‏ 1 Chronicles 6

Ekika kya Leevi

1Batabani ba Leevi baali
Gerusoni, ne Kokasi ne Merali.
2Batabani ba Kokasi ne baba
Amulaamu, ne Izukali, ne Kebbulooni, ne Wuziyeeri.
3Ate abaana ba Amulaamu baali
Alooni, ne Musa ne Miryamu.
Batabani ba Alooni baali
Nadabu, ne Abiku, ne Eriyazaali ne Isamaali.
4Eriyazaali n’azaala Finekaasi,
ate Finekaasi n’azaala Abisuwa;
5Abisuwa n’azaala Bukki,
ate Bukki n’azaala Uzzi;
6Uzzi n’azaala Zerakiya,
ne Zerakiya n’azaala Merayoosi;
7Merayoosi n’azaala Amaliya,
ne Amaliya n’azaala Akitubu;
8Akitubu n’azaala Zadooki,
ate Zadooki n’azaala Akimaazi;
9Akimaazi n’azaala Azaliya,
ne Azaliya n’azaala Yokanaani;
10Yokanaani n’azaala Azaliya (oyo ye yaweerezanga nga kabona mu yeekaalu sulemaani gye yazimba mu Yerusaalemi);
11Azaliya n’azaala Amaliya,
ne Amaliya n’azaala Akitubu;
12Akitubu n’azaala Zadooki,
ne Zadooki n’azaala Sallumu;
13Sallumu n’azaala Kirukiya,
ne Kirukiya n’azaala Azaliya;
14Azaliya n’azaala Seraya,
ne Seraya n’azaala Yekozadaki;
15Yekozadaki yatwalibwa mu buwaŋŋanguse Mukama bwe yawaayo Yuda ne Yerusaalemi mu mukono gwa Nebukadduneeza.

16Batabani ba Leevi baali
Gerusomu, ne Kokasi ne Merali.
17Gano ge mannya g’abatabani ba Gerusomu,
ne Libuni ne Simeeyi.
18Batabani ba Kokasi baali
Amulaamu, ne Izukali, ne Kebbulooni ne Wuziyeeri.
19Batabani ba Merali baali
Makuli ne Musi.

Gino gy’emituba egy’Abaleevi okutandika ne bajjajja baabwe:
20Abaava mu Gerusomu baali
Libuni mutabani we, ne Yakasi,
ne Zimura,
21ne Yowa,
ne Iddo, ne Zeera,
ne Yeyaserayi.
22Bazzukulu ba Kokasi baali
Amminadaabu mutabani we, Koola muzzukulu we,
Assiri muzzukulu we;
23Erukaana muzzukulu we,
Ebiyasaafu muzzukulu we, Assiri muzzukulu we;
24Takasi muzzukulu we, Uliyeri muzzukulu we, Uzziya muzzukulu we, ne Sawuli muzzukulu we.
25Batabani ba Erukaana baali
Amasayi ne Akimosi,
26ne bazzukulu be nga be ba Erukaana, ne Zofayi,
ne Nakasi,
27ne Eriyaabu,
ne Yerokamu, ne Erukaana
ne Samwiri.
28Batabani ba Samwiri baali
Yoweeri omuggulanda we,
n’owokubiri nga ye Abiya.
29Bazzukulu ba Merali baali
Makuli, ne Libuni,
ne Simeeyi, ne Uzza,
30ne Simeeyi, ne Kaggiya
ne Asaya, ng’omu ye kitaawe w’omulala nga bwe baddiriŋŋana.

31Bano be basajja Dawudi be yalonda okukulira eby’ennyimba mu nnyumba ya Mukama, essanduuko ng’eteekeddwamu. 32Baaweererezanga mu nnyimba mu maaso g’ekuŋŋaaniro ey’Eweema ey’Okusisikanirangamu, okutuusa Sulemaani lwe yazimba yeekaalu ya Mukama mu Yerusaalemi. Era bakolanga emirimu gyabwe, nga bagoberera ebiragiro ebyabaweebwa.

33Bano be basajja abaaweerezanga, wamu ne batabani baabwe:
Okuva mu Abakokasi;
Kemani, omuyimbi,
mutabani wa Yoweeri, muzzukulu wa Samwiri,
34muzzukulu wa Erukaana, muzzukulu wa Yerokamu,
muzzukulu wa Eryeri, muzzukulu wa Toowa,
35muzzukulu wa Zufu, muzzukulu wa Erukaana,
muzzukulu wa Makasi, muzzukulu wa Amasayi;
36muzzukulu wa Erukaana, muzzukulu wa Yoweeri,
muzzukulu wa Azaliya, muzzukulu wa Zeffaniya,
37muzzukulu wa Takasi, muzzukulu wa Assiri,
muzzukulu wa Ebiyasaafu, muzzukulu wa Koola,
38muzzukulu wa Izukali, muzzukulu wa Kokasi,
muzzukulu wa Leevi, mutabani wa Isirayiri.
39Kemani yalina muganda we Asafu eyamuyambangako mu mulimu ogwo, era n’ab’enju ye baali bwe bati:
Asafu mutabani wa Berekiya, muzzukulu wa Simeeyi,
40muzzukulu wa Mikayiri, muzzukulu wa Baaseya,
muzzukulu wa Malukiya,
41muzzukulu wa Esuni,
muzzukulu wa Zeera, muzzukulu wa Adaaya,
42muzzukulu wa Esani, muzzukulu wa Zimma,
muzzukulu wa Simeeyi,
43muzzukulu wa Yakasi,
muzzukulu wa Gerusoni, mutabani wa Leevi.
44Ne baganda be abalala abaamuyambangako baali abazzukulu ba Merali, mutabani wa Leevi,
Esani mutabani wa Kiisi, muzzukulu wa Abudi,
muzzukulu wa Malluki,
45muzzukulu wa Kasukabiya,
muzzukulu wa Amaziya, muzzukulu wa Kirukiya, muzzukulu wa Amaziya,
46muzzukulu wa Amuzi, muzzukulu wa Bani,
muzzukulu wa Semeri,
47muzzukulu wa Makuli,
muzzukulu wa Musi, muzzukulu wa Merali,
mutabani wa Leevi.

48Baganda baabwe Abaleevi baavunaanyizibwanga okukola emirimu gyonna egy’omu Weema, ye Nnyumba ya Katonda.

Ennyumba ya Alooni

49Naye Alooni ne batabani be ne bazzukulu be, be baawangayo ku kyoto ebiweebwayo ebyokebwa ne ku kyoto eky’okwoterezangako obubaane olw’ebyo byonna ebyakolebwanga mu Kifo ekisinga Obutukuvu, olw’okutangirira Isirayiri, nga Musa, omuddu wa Katonda bwe yalagira.

50Bano be baava mu nda ya Alooni:
mutabani we Eriyazaali, muzzukulu we Finekaasi,
muzzukulu we Abisuwa,
51muzzukulu we Bukki,
muzzukulu we Uzzi, muzzukulu we Zerakiya,
52muzzukulu we Merayoosi, muzzukulu we Amaliya,
muzzukulu we Akitubu,
53muzzukulu we Zadooki,
ne muzzukulu we Akimaazi.

54Bino by’ebifo ebyabaweebwa okutuulamu ng’ensi yaabwe era bino bye byali biweereddwa bazzukulu ba Alooni Abakokasi, kubanga be baasooka okufuna omugabo.
55Baaweebwa Kebbulooni mu nsi ya Yuda, n’amalundiro agakyetoolodde, 56naye ennimiro n’ebyalo ebyetoolodde ekibuga ekyo, byaweebwa Kalebu mutabani wa Yefune. 57Bazzukulu ba Alooni baaweebwa Kebbulooni, ekibuga eky’okwekwekamu, Libuna n’amalundiro gaakyo, 58Kireni n’amalundiro gaakyo, Debiri n’amalundiro gaakyo, 59Asani n’amalundiro gaakyo, ne Besusemesi n’amalundiro gaakyo.
60Ate n’okuva eri ekika kya Benyamini baaweebwa Gibyoni
Gibyoni erinnya eryo teryali mu muzingo ogwawandiikibwa mu Lwebbulaniya
ne Geba, ne Allemesi, ne Anasosi wamu n’amalundiro gaabyo. Ebibuga byonna awamu ebyaweebwa Abakokasi byali kkumi na bisatu.

61Bazzukulu ba Kokasi abalala baweebwa ebibuga kkumi okuva ku nda ez’ekitundu ky’ekika kya Manase nga bakuba akalulu.
62Bazzukulu ba Gerusoni, ng’enda zaabwe bwe zaali, baaweebwa ebibuga kkumi na bisatu okuva ku bika bya Isakaali, Aseri, Nafutaali, n’okuva ku kika kya Manase mu Basani.
63Bazzukulu ba Merali ng’enda zaabwe bwe zaali, baaweebwa ebibuga kkumi na bibiri okuva ku bika bya Lewubeeni, Gaadi ne Zebbulooni.

64Awo Abayisirayiri ne bawa Abaleevi ebibuga ebyo ne babaweerako n’amalundiro byabyo.

65N’ebibuga okuva mu bika bya Yuda, ne Simyoni ne Benyamini ebyogeddwako byabaweebwa nga bakuba akalulu.

66Enda ezimu eza Kokasi zaaweebwa ebibuga okuva eri ensi y’ekika kya Efulayimu.
67Okuva eri ensi ya Efulayimu baaweebwa Sekemu, ekibuga ky’obuddukiro, Gezeri, 68ne Yokumyamu, ne Besukolooni, 69ne Ayalooni ne Gasulimmoni, n’amalundiro gaabyo.
70N’okuva eri ekitundu ky’ekika kya Manase, Abayisirayiri ne babagabira Aneri ne Biryamu, wamu n’amalundiro byako eri enda ezaali zisigaddewo eza Kokasi.

71Abagerusomu baaweebwa ebifo bino wansi:
okuva eri ekitundu ky’ekika kya Manase baafuna Golani mu Basani ne Asutoleesi, wamu n’amalundiro byako.
72Okuva eri ekika kya Isakaali baafuna Kedesi, Daberasi 73Lamosi ne Anemu wamu n’amalundiro gaabyo (byako);
74okuva eri ekika kya Aseri, baafuna Masali, Abudoni, 75Kukkoki ne Lekobu wamu n’amalundiro gaabyo;
76n’okuva eri ekika kya Nafutaali baafuna Kedesi eky’omu Ggaliraaya, ne Kammoni ne Kiriyasayimu wamu n’amalundiro byako.

77Abaleevi abaali basigaddewo, be bazzukulu ba Merali, baaweebwa ebifo bino wansi:
okuva eri ekika kya Zebbulooni baafuna Limunono ne Taboli wamu n’amalundiro byabyo;
78okuva eri ekika kya Lewubeeni, emitala wa Yoludaani ku luuyi olw’ebuvanjuba lw’e Yeriko, baafuna Bezeri ekiri mu ddungu, Yaza, 79Kedemosi ne Mefaasi wamu n’amalundiro byabyo;
80n’okuva eri ekika kya Gaadi baafuna Lamosi ekiri mu Gireyaadi, Makanayimu, 81Kesuboni ne Yazeri wamu n’amalundiro byabyo.
Copyright information for LugEEEE