1 Thessalonians 2:13
13 aNaffe kyetuva twebaza Katonda obutayosa, kubanga bwe mwawulira ekigambo ekiva gye tuli, temwakiwulira ng’ekiva eri abantu wabula ng’ekiva eri Katonda, nga ky’ekigambo kya Katonda kyennyini, ekikolera ne mu mmwe, abakkiriza.