‏ 2 Samuel 23

Ebigambo ebya Dawudi eby’Enkomerero

1Bino bye bigambo ebya Dawudi, mutabani wa Yese, eby’enkomerero: ebigambo eby’omusajja eyagulumizibwa,
Ali Waggulu ennyo,
Katonda wa Yakobo gwe yafukako amafuta,
omuyimbi wa Zabbuli za Isirayiri:

2“Omwoyo wa Mukama yayogerera mu nze,
ekigambo kye kyali mu kamwa kange.
3Katonda wa Isirayiri yayogera,
olwazi lwa Isirayiri yaŋŋamba nti,
‘Omuntu bw’afuga n’obutuukirivu,
n’afugira mu kutya Katonda,
4ali ng’ekitangaala eky’oku makya,
enjuba ng’evaayo ku ggulu nga tekuli bire,
obudde nga butangaala oluvannyuma lw’enkuba okukya
ereetera omuddo okuvaayo mu ttaka.’
5Ennyumba yange tetuukiridde mu maaso ga Katonda?
Teyalagaana nange endagaano ey’enkalakkalira,
n’agiteekateeka era n’aginyweza mu buli nsonga?
Ekimulobera okumpa omukisa,
n’okuddamu buli kye mmusaba, kiki?
6Naye abatatya Katonda baliba nga amaggwa agasuulibwa wa bbali,
kizibu okugakwata n’engalo.
7Buli agakwatako kimugwanira okukozesa ekyuma
oba olunyago lw’effumu,
era gookerwa awo omuliro we bagakuŋŋaanyirizza.”

Abasajja ba Dawudi ab’Amaanyi

8Gano ge mannya ag’abasajja ba Dawudi abalwanyi ab’amaanyi be yalina: Yosebu-Basusebesi Omutakemoni eyali omukulu wa bazira abasatu ab’oku ntikko; yatta abasajja lunaana mu lulumbagana lumu.

9Eyamuddiriranga ye yali Eriyazaali mutabani wa Dodayi Omwakowa. Yali ne Dawudi bwe baasoomooza Abafirisuuti abaali bakuŋŋaanye okulwana. Abasajja ba Isirayiri baali bazze ennyuma, 10naye ye nayimirira ku bubwe n’atta Abafirisuuti, n’omukono gwe ne gukoowa, ne gusanyalalira ku kitala. Mukama n’abawa obuwanguzi obw’amaanyi olunaku olwo, abaserikale ne baddayo eri Eriyazaali okunyaga ebintu byabo abattibwa.

11Owookusatu ye yali Samma mutabani wa Agee Omukalali. Abafirisuuti bwe baakuŋŋaanira mu musiri ogw’ebijanjaalo, abasajja ba Isirayiri ne babadduka, 12Samma yayimirira wakati mu musiri, n’agulwanirira, era n’atta Abafirisuuti. Mukama n’awa Abayisirayiri obuwanguzi obw’amaanyi.

13Mu kiseera eky’okukungula, basatu ku bakungu amakumi asatu ne bagenda eri Dawudi mu mpuku eya Adulamu, ekibinja ky’Abafirisuuti nga basiisidde mu kiwonvu Lefayimu. 14Mu kiseera ekyo Dawudi yali mu kigo, n’olusiisira lw’Abafirisuuti nga luli mu Besirekemu. 15Dawudi n’alumwa ennyonta, n’ayogera nti, “Waliwo omuntu ayinza okunsenera amazzi okuva mu luzzi oluliraanye wankaaki wa Besirekemu?” 16Awo abasajja be abazira abasatu ne bawaguza mu nkambi ey’Abafirisuuti, ne basena amazzi okuva mu luzzi lwa Besirekemu olwali luliraanye wankaaki, ne bagatwalira Dawudi. 17Naye mu kifo eky’okuganywa n’agayiwayo eri Mukama. N’ayogera nti, “Kikafuuwe, Ayi Mukama Katonda, nze okukola ekyo. Nnyinza ntya okunywa omusaayi ogw’abasajja abawaddeyo obulamu bwabwe?” Bw’atyo n’ataganywa.

Ebyo bye bimu ku bintu abasajja abo abasatu abazira bye baakola.

18Waaliwo ne Abisaayi muganda wa Yowaabu, mutabani wa Zeruyiya, naye nga mukulu w’abasajja amakumi asatu. Yayimusiza effumu lye eri abasajja ebikumi bisatu n’abatta, ne yeekolera erinnya okwenkanankana abasatu. 19N’aba wa kitiibwa nnyo mu bali amakumi asatu newaakubadde nga teyatuuka ku ssa ery’abali abasatu.

20Ne Benaya mutabani wa Yekoyaada ow’e Kabuzeeri yali musajja mulwanyi nnyo eyakola ebyobuzira ebikulu. Yatta babiri ku basajja abazira aba Mowaabu, ate n’aserengeta ne mu bunnya n’atta empologoma mu kiseera eky’obutiti. 21N’atta Omumisiri omunene ennyo. Newaakubadde ng’Omumisiri yalina effumu mu mukono gwe, Benaya ye ng’alina muggo; yamunyagako effumu lye, n’alimuttisa. 22Ebyo bye byobuzira Benaya mutabani wa Yekoyaada bye yakola, era naye n’ayatiikirira ng’abasajja bali abasatu abazira. 23N’aweebwa ekitiibwa mu makumi asatu, newaakubadde nga teyatuuka ku ssa ery’abasatu. Dawudi n’amufuula omukulu w’abambowa.

24Mu makumi asatu mwe mwali:

Asakeri muganda wa Yowaabu,
Erukanani mutabani wa Dodo ow’e Besirekemu,
25Samma Omukalodi,
Erika Omukalodi,
26Kerezi Omupaluti,
Ira mutabani wa Ikkesi Omutekowa,
27Abiyezeeri Omwanasosi,
Mebunnayi Omukusasi,
28Zalumoni Omwakowa,
Makalayi Omunetofa,
29Kerebu mutabani wa Baana Omunetofa,
Ittayi mutabani wa Libayi ow’e Gibea eky’e Benyamini,
30Benaya Omupirasoni,
Kiddayi ow’oku bugga obw’e Gaasi,
31Abi-Aluboni Omwalubasi,
ne Azumavesi Omubalukumi,
32ne Eriyaba Omusaaluboni,
batabani ba Yaseni, Yonasaani,
33ne Samma Omukalali,
Akiyamu mutabani wa Salali Omwalali,
34Erifereti mutabani wa Akasubayi Omumaakasi,
Eriyaamu mutabani wa Akisoferi Omugiro,
35Kezulo Omukalumeeri,
Paalayi Omwalubi,
36Igali mutabani wa Nasani ow’e Zoba,
Bani Omugaadi,
37Zereki Omwamoni,
Nakalayi Omubeerosi, eyasitulanga ebyokulwanyisa bya Yowaabu mutabani wa Zeruyiya,
38Ira Omuyisuli,
Galebu Omuyisuli,
39ne Uliya Omukiiti.

Bonna awamu baali amakumi asatu mu musanvu.
Copyright information for LugEEEE