‏ Amos 5

Okukuba Omulanga ogw’Okukungubaga n’Okwenenya mu Isirayiri

1Muwulirize mmwe abantu ba Isirayiri ekigambo kino eky’ennaku ekibakwatako. 2“Isirayiri embeerera agudde
obutayimuka nate.
Bamwabulidde
era tewali amuyimusa.”

3Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, “Ekibuga ekiyungula abalwanyi olukumi okugenda mu lutalo
kirisigazaawo kikumi bokka,
n’ekyo ekiweereza ekikumi,
kirizza kkumi bokka!”

4Bw’ati bw’ayogera Mukama eri ennyumba ya Isirayiri nti, “Munnoonye kale munaabanga balamu.
5Temunnoonyeza Beseri
so temulaga Girugaali
wadde okulaga e Beeruseba.
Kubanga abantu b’e Girugaali balitwalibwa mu buwaŋŋanguse
era ne Beseri kiriggwaawo.”
6Munoonye Mukama munaabanga balamu
aleme okubuubuuka ng’omuliro ku nnyumba ya Yusufu;
guligyokya
nga tewali wa kuguzikiza mu Beseri.

7Mmwe abantu ba Isirayiri abafuula obwenkanya okuba eky’okufumwa obufumwa
mutulugunya obutuukirivu.

8Oyo eyakola ettendo eriri mu mmunyeenye ezaaka ng’ebizungirizi
era afuula ekisiikirize okubeera enkya
era akyusa obudde ne buva mu kitangaala ne bufuuka ekiro,
ayita amazzi g’omu nnyanja
ne gafukirira ensi ng’enkuba,
Mukama lye linnya lye.
9Okutemya n’okuzibula aleeta okuzikirira ku b’amaanyi
era n’asaanyaawo ebibuga ebiriko ebigo.

10Mukyawa abalamuzi abasalawo mu bwenkanya
era munyooma n’abo aboogera amazima.

11Olinnyirira omwavu,
n’omuwaliriza okukuwa emmere ey’empeke.
Newaakubadde nga mwezimbidde amayumba ag’amayinja,
temuligabeeramu;
era newaakubadde nga mwesimbidde ennimiro z’emizabbibu ennungi,
temulinywa ku wayini waamu.
12Ebibi byammwe mbimanyi,
nga bingi ate nga bisasamaza.

Munyigiriza omutuukirivu ne mulya n’enguzi,
abaavu temubasalira musango mu bwenkanya.
13Noolwekyo oyo alina amagezi kyaliva asirika obusirisi mu biseera ng’ebyo
kubanga ennaku mbi.

14Munoonyenga okukola obulungi, so si obubi
munaabeeranga balamu!
Bw’atyo Mukama Katonda ow’Eggye anaabeeranga mubeezi wammwe
nga bulijjo bwe mumuyita.
15Mukyawe ekibi, mwagalenga ekirungi
era embuga z’amateeka zibeerengamu obwenkanya.
Oboolyawo Mukama Katonda ow’Eggye anaabakwatirwa ekisa
abantu abo abaasigalawo ku Yusufu.

16Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti, “Walibeerawo okwaziirana mu nguudo
n’okukaaba mu buli kibangirizi eky’omu kibuga.
N’abalimi baliyitibwa, bakaabe,
n’abakungubazi bakube ebiwoobe.
17Walibaawo okukaaba mu buli nnimiro ya mizabbibu
kubanga nzija okuyita wakati mu mmwe.”

18Zibasanze mmwe abasuubira
olunaku lwa Mukama.
Lwaki mwesunga olunaku lwa Mukama?
Olunaku olwo luliba kizikiza so si kitangaala.
19Olunaku olwo lulibeera ng’omusajja adduka empologoma
n’asisinkana eddubu,
bw’aba ng’ayingira mu nnyumba
ne yeekwata ku kisenge,
ate n’abojjebwa omusota.
20Olunaku lwa Mukama, teruliba kizikiza awatali kitangaala n’akatono,
ng’ekizikiza ekikutte ennyo?

21Nkyawa, era nnyooma embaga zammwe n’emikolo gyammwe egy’eddiini
so sisanyukira kukuŋŋaana kwammwe.
22Weewaawo, ne bwe munaawaayo gye ndi ebiweebwayo byammwe ebyokebwa n’ebiweebwayo eby’emmere ey’empeke,
sijja kubikkiriza.
Ne bwe mulireeta ebiweebwayo olw’emirembe ebisinga obulungi,
siribikkiriza.
23Muggyeewo ennyimba zammwe ez’okutendereza.
Siriwuliriza na bivuga ng’entongooli zammwe.
24Kye njagala okulaba ge mazima n’obwenkanya nga bikulukuta ng’amazzi,
n’obutuukirivu nga bukulukuta ng’omugga ogw’amaanyi.

25“Mwandeeteranga ssaddaaka n’ebiweebwayo mu ddungu
emyaka gyonna amakumi ana, ggw’ennyumba ya Isirayiri?
26Muyimusizza essabo lya kabaka wammwe,
amaanyi ga bakatonda bammwe,
n’emmunyeenye ya katonda wammwe,
bye mwekolera mmwe.
27Kyendiva mbawaŋŋangusa okusukka Ddamasiko,”
bw’ayogera Mukama, ayitibwa Katonda Ayinzabyonna.
Copyright information for LugEEEE