Daniel 12
Ebiseera eby’Enkomerero
1“Mu biro ebyo Mikayiri omulangira omukulu akuuma abantu bo aligolokoka, ne yeeyimirira abantu bo. Waliba ekiseera eky’okubonaaboneramu ekitabangawo okuva ku kutondebwa kw’amawanga. Naye mu biro ebyo, omuntu aliba awandiikiddwa mu kitabo, alirokolebwa. 2Bangi ku beebase mu nfuufu ey’ensi baligolokoka, abamu eri obulamu obutaggwaawo, n’abalala eri ensonyi n’okuswazibwa okutaggwaawo. 3Abo abalina okutegeera balyakaayakana ng’okumasamasa kw’omu bbanga; n’abo abakyusa abangi okudda eri obutuukirivu, balyakaayakana ng’emmunyeenye emirembe n’emirembe. 4Naye ggwe Danyeri, bikka era osse envumbo ku kitabo okutuusa ekiseera eky’enkomerero lwe kirituuka. Bangi balitambula eno n’eri, era n’okumanya n’amagezi kulyeyongera.” 5Nze Danyeri ne ndyoka ndaba, laba babiri abalala nga bayimiridde mu maaso gange, omu ku lubalama lw’omugga olumu, n’omulala ku lubalama lw’omugga olulwolekedde. 6Omu ku bo n’agamba omusajja, eyali waggulu w’amazzi g’omugga ng’ayambadde linena nti, “Kiritwala bbanga ki ebyewuunyisa ebyo byonna okutuukirira?” 7Omusajja eyali waggulu w’amazzi g’omugga ng’ayambadde linena, n’ayimusa omukono gwe ogwa ddyo n’omukono gwe ogwa kkono eri eggulu, ne mmuwulira ng’alayira eri oyo abeera omulamu emirembe n’emirembe, ng’ayogera nti, “Waliyitawo ebbanga lya myaka esatu n’ekitundu. Era amaanyi g’abantu abatukuvu bwe galimalibwawo, ebintu ebyo byonna ne biryoka bituukirira.” 8Ne mpulira naye ne sitegeera. Kyennava mbuuza nti, “Mukama wange, biki ebiriva mu ebyo byonna?” 9N’anziramu nti, “Weetambulire makubo go, Danyeri, kubanga ebigambo bibikiddwako era n’ekitabo kissibbwako envumbo okutuusa ekiseera eky’enkomerero. 10Bangi balitukuzibwa ne balongoosebwa obutabaako na bbala, naye abatali batuukirivu balyeyongera okukola ebibi. Ku batali batuukirivu tekuliba ategeera, naye ab’amagezi baliba n’okutegeera. 11“N’okuva mu kiseera ekya ssaddaaka eya buli lunaku ng’eggyiddwawo n’eby’emizizo ebizikiriza nga biteekeddwawo, waliyitawo ennaku lukumi mu bibiri mu kyenda. 12Alina omukisa oyo alirindirira n’atuuka ku nkomerero ey’ennaku olukumi mu bisatu mu asatu mu ttaano. 13“Naye ggwe tambula makubo go okutuusa enkomerero lwe lituuka. Oliwummula, ne ku nkomerero oligolokoka n’oweebwa omugabo gwo gwe wategekerwa.”
Copyright information for
LugEEEE