Habakkuk 2
Obulamu eri Abatuukirivu
1Kale ndiyimirira mu kifo kyange we ntera okubeerantunule nga ndi waggulu eyo ku ggulumu
nnindirire ky’aliŋŋamba,
era ne kye ndimuddamu ekikwata ku kwemulugunya kw’abantu.
2Awo Mukama n’anziramu n’ayogera nti, “Wandiika okwolesebwa okwo ku bipande.
Kuwandiike bulungi
ate omubaka gwe banaatuma, akutwale bunnambiro.
3Kubanga okwolesebwa okwo kujja mu kiseera kyakwo ekigere.
Kwogera ku by’enkomerero
ate si kwa bulimba.
Bwe kunaaba ng’okuluddewo, mukulindirire,
kujja kutuukirira, tekugya kulwa.
4“Laba oyo ow’emmeeme eteri nnongoofu wa kugwa,
naye omutuukirivu aliba mulamu olw’obwesigwa bwe.”
Akabi eri Aboonoonyi
5Weewaawo, omwenge mulimbaguleetera omuntu amalala, ate taguwummulako.
Ate olwokubanga gwa mululu ng’emagombe, mu butakkuta gufaanana okufa.
Era okufaanana ng’olumbe, tegukkuta,
amawanga gonna gugeekuŋŋanyizaako
ne gugafuula abasibe.
6“Bano bonna si be balimugererako engero bamusekerere nga bagamba nti, “ ‘Zimusanze oyo eyeyongeza ebitali bibye!
Oyo eyeetuumako obugagga obuva mu nguzi!’
7Abakubanja tebalikuyimukirako nga tomanyiridde,
era tebalizuukuka ne bakweraliikiriza?
Oliba togudde mu mikono gyabwe?
8Kubanga onyaze amawanga mangi,
abantu abasigaddewo balikunyaga;
Oyiye omusaayi gw’abantu,
n’oyonoona ensi n’ebibuga n’abantu bonna ababibeeramu.”
9Zimusanze oyo azimbira amaka ge ku bikolwa ebibi,
azimba ekisu kye waggulu,
okwekuuma obutatuukwako kabi!
10Wategeka okuzikirira kw’abantu bangi,
n’oswaza ennyumba yo ne weefiiriza obulamu bwo.
11Amayinja g’oku bbugwe galikaaba,
n’emikiikiro gy’ebibajje girikyasanguza.
12Zimusanze oyo azimba ekibuga n’omusaayi,
atandika ekibuga n’obutali butuukirivu.
13Tekyategekebwa Mukama ow’Eggye
nti okutegana kw’abantu nku buku za muliro,
n’amawanga geemalamu ensa olw’ebintu ebitaliimu?
14Kubanga ensi erijjula okumanya ekitiibwa kya Mukama,
ng’amazzi bwe ganjaala ku nnyanja.
15Zimusanze oyo awa baliraanwa be ekitamiiza
n’akibafukira okuva mu kita n’abawa banywe okutuusa lwe batamiira
asobole okutunuulira ensonyi zaabwe!
16Olijjuzibwa ensonyi mu kifo ky’ekitiibwa.
Naawe olinywa n’oswala.
Ekikompe eky’omu mukono gwa Mukama ogwa ddyo kirikyusibwa kidde gy’oli,
n’ensonyi ez’obuwemu zisaanikire ekitiibwa kyo.
17Ebikolwa eby’obukambwe bye watuusa ku Lebanooni,
n’okutta ensolo, birikutiisa.
Osse abantu
n’ozikkiriza ensi n’ebibuga n’abantu ababibeeramu.
18“Ekifaananyi ekyole kigasa ki? Anti kibajje bubazzi.
Oba ekifaananyi eky’ekyuma, ekisomesa obulimba?
Kubanga omuweesi yeesiga mirimu gya mikono gye
nga akola ebifaananyi ebitayogera!
19Zimusanze oyo agamba omuti nti, ‘Lamuka;’
agamba ejjinja nti, ‘Golokoka!’
Kino kisobola okuluŋŋamya?
Kibikiddwa zaabu ne ffeeza,
so tekiriimu bulamu n’akatono.
20Naye Mukama ali mu yeekaalu ye entukuvu:
ensi zonna zisiriikirire mu maaso ge.”
Copyright information for
LugEEEE