‏ Hebrews 3

Yesu Mukulu Okusinga Musa

1Kale abooluganda abatukuvu, Katonda b’ayise, mulowoozenga ku Yesu, Omutume Omukulu era Kabona Asinga Obukulu, gwe twatula. 2Yali mwesigwa eri oyo eyamulonda, era nga Musa bwe yali omwesigwa mu nnyumba ya Katonda yonna. 3Kubanga ng’omuzimbi bw’aweebwa ekitiibwa okusinga ennyumba gy’azimbye, bw’atyo Yesu wa kitiibwa okusinga Musa. 4Kubanga buli nnyumba wabaawo agizimba, naye Katonda ye y’azimba buli kintu. 5Musa yali muweereza mwesigwa mu nnyumba ya Katonda yonna, eyayogera eby’obunnabbi ku bintu ebyali bigenda okwogerwa mu biro eby’omu maaso. 6Naye ate Kristo ye Mwana omwesigwa, akulira ennyumba ya Katonda; ate ffe tuli nnyumba y’oyo bwe tunywera ne tuba bavumu ne twenyumiririza mu ssuubi lye tunywezezza.

Ekiwummulo ky’Abaana ba Katonda

7Noolwekyo nga Mwoyo Mutukuvu bw’agamba nti, “Leero bwe munaawulira eddoboozi lye,
8temukakanyaza mitima gyammwe,
nga bali bwe baajeema,
ku lunaku lwe bagezesaako Katonda mu ddungu.
9Bajjajjammwe bangezesa,
ne balaba bye nakola mu myaka amakumi ana.
10Kyennava nsunguwalira omulembe ogwo, ne njogera nti bulijjo baba bakyamu mu mitima gyabwe,
era tebamanyi makubo gange.
11Kyennava ndayira nga nsunguwadde nti,
‘Tebaliyingira mu kiwummulo kyange.’ ”

12Mwekuume abooluganda, omutima omubi ogw’obutakkiriza gulemenga kuba mu muntu yenna ku mmwe, ne gubaggya ku Katonda omulamu. 13Mubuuliraganenga mwekka na mwekka bulijjo ng’ekiseera kikyaliwo, waleme okubaawo n’omu ku mmwe akakanyazibwa obulimba bw’ekibi. 14Olw’okubanga tussa kimu mu Kristo, tunywereze ddala obwesige bwaffe bwe twatandika nabwo, era tubunywereze ddala okutuusa ku nkomerero. 15Kyogerwako nti, “Leero bwe munaawulira eddoboozi lye
temukakanyaza mitima gyammwe
nga bwe mwakola bwe mwajeema.”

16Be baani abaawulira, naye ne bajeema? Si abo bonna abaava mu Misiri ne Musa? 17Era baani be yanyiigira okumala emyaka amakumi ana? Si abo abaayonoona ne bafiira mu ddungu? 18Era baani abo Katonda be yalayirira obutayingira mu kiwummulo kye? Si abo abataagonda? 19Era tulaba nga baalemwa okuyingira olw’obutakkiriza bwabwe.
Copyright information for LugEEEE