Hosea 2
1“Mwogere ku baganda bammwe nti, ‘bantu bange,’ mwogere ne ku bannyinammwe nti, ‘baagalwa bange.’ ”Okubonerezebwa kwa Isirayiri, n’Okuzzibwa Obuggya kwabwe
2Munenye nnyammwe,mumunenye,
kubanga si mukazi wange, so nange siri bba.
Aggyewo obukaba obuli mu maaso ge,
n’obwenzi obuva wakati w’amabeere ge;
3nneme okumwambulira ddala
ne mmulekeraawo nga bwe yali ku lunaku kwe yazaalibwa;
ne mmufuula ng’eddungu,
ne mmulekawo ng’ensi enkalu eteriiko ky’egasa,
ne mmussa ennyonta.
4Sirilaga kwagala kwange eri abaana be,
kubanga baana ba bwenzi.
5Nnyabwe yakola obwenzi,
n’abazaalira mu buwemu.
Yayogera nti, “Ndigenda eri baganzi bange abampa emmere n’amazzi,
n’ebimbugumya n’ebyokwambala,
n’amafuta n’ekyokunywa.”
6Kyendiva nziba ekkubo lye n’amaggwa,
ne mmuzimbako bbugwe okumwetooloola, aleme okulaba ekkubo wayitira.
7Aligezaako okugoberera baganzi be abakwate,
naye talibatuukako, alibanoonya naye talibalaba.
Oluvannyuma alyogera nti, “Naagenda eri bba wange eyasooka,
kubanga mu biro ebyo nabanga bulungi
okusinga bwe ndi kaakano.”
8Tajjukira nga nze namuwanga eŋŋaano,
ne wayini n’amafuta,
era eyamuwa effeeza ne zaabu
bye baakozesanga okuweerezanga Baali.
9“Kyendiva neddiza emmere yange ey’empeke ng’eyengedde,
ne wayini wange ng’atuuse;
era nzija kumuggyako ebyambalo byange eby’ebbugumu n’ebyambalo byange ebya bulijjo,
bye yayambalanga.
10Era kyenaava nyanika obukaba bwe
mu maaso ga baganzi be,
so tewaliba amuwonya mu mukono gwange.
11Ndikomya ebinyumu bye byonna, n’embaga ze eza buli mwaka,
n’embaga ze ez’emyezi egyakaboneka, ne ssabbiiti ze,
n’enkuŋŋaana ze zonna entukuvu.
12Ndizikiriza emizabbibu gye n’emitiini gye,
gye yayogerako nti, ‘Guno gwe musaala baganzi bange gwe bansasula.’
Ndibizisa,
era n’ensolo ez’omu nsiko ziribyonoona.
13Ndimubonereza olw’ennaku
ze yayotereza obubaane eri Babaali,
ne yeeyambaza empeta n’ebintu eby’omuwendo ennyo,
n’agenda eri baganzi be,
naye nze n’aneerabira,”
bw’ayogera Mukama.
14Kale kyendiva musendasenda,
ne mmutwala mu ddungu,
ne njogera naye n’eggonjebwa.
15Era eyo ndimuddiza ennimiro ze ez’emizabbibu,
ne nfuula Ekiwonvu kya Akoli ▼
▼Akoli kitegeeza emitawaana
oluggi olw’essuubi.Alimpuliriza nga bwe yampulirizanga mu nnaku ez’obuvubuka bwe,
era nga mu biro bye yaviira mu nsi ya Misiri.
16“Ku lunaku olwo,” bw’ayogera Mukama,
“olimpita nti, ‘mwami wange;’
toliddayo nate kumpita, ‘Mukama wange.’ ”
17Ndiggya amannya ga Babaali mu kamwa ke,
so taliddayo nate okwasanguza amannya gaabwe.
18Ku lunaku olwo ndibakolera endagaano
n’ensolo ez’omu nsiko n’ennyonyi ez’omu bbanga,
n’ebyewalula ku ttaka,
era ndiggyawo obusaale, n’ekitala, n’entalo mu nsi,
bonna ne batuula mirembe.
19Era ndikwogereza ennaku zonna,
ndikwogereza mu butuukirivu, ne mu mazima,
ne mu kwagala ne mu kusaasira.
20Ndikwogereza mu bwesigwa,
era olimanya Mukama.
21“Ku lunaku olwo,
ndyanukula eggulu,
nalyo ne lyanukula ensi;
22ensi erimeramu emmere ey’empeke,
ne wayini n’amafuta,
nabyo ne bifunibwa Yezuleeri, ▼
▼Yezuleeri kitegeeza Katonda asimba
”bw’ayogera Mukama.
23“Ndimwesimbira mu nsi,
ndisaasira oyo eyayitibwanga nti, atasaasirwa,
era ndigamba abataali bantu bange nti, ‘Bantu bange,’
era nabo balyogera nti, ‘Ggwe Katonda wange.’ ”
Copyright information for
LugEEEE