Hosea 5
Isirayiri Asalirwa Omusango
1Muwulire kino mmwe bakabona!Musseeyo omwoyo, mmwe Isirayiri!
Muwulirize, mmwe ennyumba ya Kabaka!
Omusango guli ku mmwe:
Mubadde kyambika e Mizupa,
era ekitimba ekitegeddwa ku Taboli.
2Abajeemu bamaliridde okutta,
naye ndibabonereza bonna.
3Mmanyi byonna ebikwata ku Efulayimu,
so ne Isirayiri tankisibwa.
Efulayimu weewaddeyo okukuba obwamalaaya,
ne Isirayiri yeeyonoonye.
4Ebikolwa byabwe tebibaganya
kudda eri Katonda waabwe,
kubanga omwoyo ogw’obwamalaaya guli mu mitima gyabwe,
so tebamanyi Mukama.
5Amalala ga Isirayiri gabalumiriza;
Abayisirayiri ne Efulayimu balyesittala olw’omusango gwabwe;
ne Yuda alyesittalira wamu nabo.
6Bwe baligenda n’ebisibo byabwe n’amagana gaabwe
okunoonya Mukama,
tebalimulaba;
abaviiridde, abeeyawuddeko.
7Tebabadde beesigwa eri Mukama;
bazadde abaana aboobwenzi.
Embaga ez’omwezi ogwakaboneka
kyeziriva zibamalawo, n’ennimiro zaabwe ne ziragajjalirwa.
8Mufuuwe eŋŋombe mu Gibea,
n’ekkondeere mu Laama.
Muyimuse amaloboozi e Besaveni;
mutukulembere mmwe Benyamini.
9Efulayimu alifuuka matongo
ku lunaku olw’okubonerezebwa.
Nnangirira ebiribaawo
mu bika bya Isirayiri.
10Abakulembeze ba Yuda bali ng’abo
abajjulula ensalo,
era ndibafukako obusungu bwange
ng’omujjuzo gw’amazzi.
11Efulayimu anyigirizibwa,
era omusango gumumezze,
kubanga yamalirira okugoberera bakatonda abalala.
12Kyenvudde nfuuka ng’ennyenje eri Efulayimu,
n’eri ennyumba ya Yuda n’emba ng’ekintu ekivundu.
13“Efulayimu bwe yalaba obulwadde bwe,
ne Yuda n’alaba ekivundu kye,
Efulayimu n’addukira mu Bwasuli,
n’atumya obuyambi okuva eri kabaka waayo omukulu.
Naye tasobola kubawonya
newaakubadde okubajjanjaba ebiwundu byabwe.
14Kyendiva mbeera ng’empologoma eri Efulayimu,
era ng’empologoma ey’amaanyi eri ennyumba ya Yuda.
Ndibataagulataagula ne ŋŋenda;
ndibeetikka ne mbatwala, ne babulwako ayinza okubawonya.
15Ndiddayo mu kifo kyange,
okutuusa lwe balikkiriza omusango gwabwe.
Balinnoonya,
mu buyinike bwabwe, balinnoonya n’omutima gwabwe gwonna.”
Copyright information for
LugEEEE