‏ Hosea 7

1na buli lwe nawonyanga Isirayiri,
ebibi bya Efulayimu ne birabika,
n’ebikolwa eby’ekyejo ebya Samaliya nabyo ne birabika.
Balimba,
bamenya ne bayingira mu mayumba,
era batemu abateega abantu mu makubo.
2Naye tebalowooza
nga nzijukira ebikolwa byabwe byonna ebibi.
Ebibi byabwe bibazingizza,
era mbiraba.

3“Kabaka asanyukira obutali butuukirivu bwabwe,
n’abakungu basanyukira obulimba bwabwe.
4Bonna benzi;
bali ng’ekyoto ekyaka omuliro,
omufumbi w’emigaati gw’ateetaaga kuseesaamu
okutuusa obutta bw’agoye, lwabuusa ku kyoto ne buzimbulukuka.
5Ku lunaku kabaka lw’agabula embaga,
abakungu ettamiiro lya wayini ne libalwaza,
kabaka ne yeegatta n’abanyoomi.
6Emitima gyabwe gyokerera nga oveni
mu busungu bwabwe;
Obusungu bwabwe bubuguumirira ekiro kyonna;
mu makya ne bwaka ng’omuliro.
7Bonna bookya nga oveni,
era bazikiriza abakulembeze baabwe.
Bakabaka baabwe bonna bagudde;
tewali n’omu ku bo ankowoola.

8“Efulayimu yeegattika ne bannaggwanga;
Efulayimu mugaati oguyiddeko oluuyi olumu.
9Bannaggwanga banyuunyunta amaanyi ge
naye takimanyi.
Mu nviiri ze mulimu envi,
naye takiraba.
10Okwekulumbaza kwa Isirayiri kwe kubalumiriza,
naye newaakubadde ng’ebyo byonna bimutuuseeko
tadda eri Mukama Katonda we
newaakubadde okumunoonya.

11“Efulayimu ali ng’ejjiba,
alimbibwalimbibwa mangu era talina magezi;
bakaabira Misiri,
era bagenda eri Obwasuli.
12Bwe baliba balaga eyo, ndibasuulako akatimba,
era ndibassa wansi ng’ennyonyi ez’omu bbanga.
Bwe ndiwulira nga bakuŋŋaana, ndibaziyiza.
13Zibasanze,
kubanga bawabye ne banvaako.
Baakuzikirira
kubanga banjemedde.
Njagala nnyo okubanunula,
naye banjogerako eby’obulimba.
14Tebankaabira n’emitima gyabwe,
wabula ebiwoobe babikubira ku bitanda byabwe.
Bakuŋŋaana awamu olw’emmere ey’empeke ne wayini,
naye ne banjeemera.
15Nabayigiriza ne mbawa n’amaanyi,
naye bansalira enkwe.
16Tebakyukira oyo Ali Waggulu Ennyo;
bafuuse ng’omutego gw’akasaale ogwayonooneka;
abakulembeze baabwe balifa kitala,
olw’ebigambo byabwe ebya kalebule.
Era kyebaliva babasekerera
mu nsi y’e Misiri.”
Copyright information for LugEEEE