‏ Isaiah 13

Obunnabbi Obukwata ku Kugwa kwa Babulooni

1Obubaka bwa Babulooni Isaaya mutabani wa Amozi bwe yalaba. 2Muwanike bbendera ku lusozi olutaliiko bantu,
mubakaabirire
mubawenye bayingire mu miryango gy’abakungu.
3Nze Mukama ndagidde abatukuvu bange
mpise abalwanyi bange ab’amaanyi,
babonereze abo abeeyisaawo abeemanyi.

4Muwulirize oluyoogaano lw’ekibiina ku nsozi,
nga luwulikika ng’olw’ogubiina ogunene!
Wuliriza, oluyoogaano lw’obwakabaka,
olw’amawanga ag’ekuŋŋaanyizza awamu!
Mukama Katonda ow’Eggye ateekateeka
eggye lye okulwana.
5Bava wala mu nsi ezeewala ennya
okuva ku nkomerero y’eggulu.
Mu busungu bwe Mukama Katonda aleese ebyokulwanyisa
eby’okuzikiriza ensi yonna.

6Mukungubage, kubanga olunaku lwa Mukama luli kumpi,
lulijja ng’okuzikirira okuva eri Mukama Katonda bwe kuba!
7Emikono gyonna kyegiriva giggwaamu amaanyi,
na buli mutima gwa muntu gulisaanuuka;
8era bakeŋŋentererwe n’okubalagala kulibakwata, balyoke balumwe ng’omukazi alumwa okuzaala.
Balitunulaganako nga bawuniikiridde amaaso gaabwe nga gatangaalirira.

9Laba olunaku lwa Mukama lujja,
olunaku olubi ennyo olw’ekiruyi n’obusungu obubuubuuka
okufuula ensi amatongo,
n’okuzikiriza abakozi b’ebibi okubamalamu.
10Kubanga emmunyeenye ez’omu ggulu n’ebibiina byazo
tebiryaka;
enjuba nayo teryaka nga bw’ekola bulijjo,
n’omwezi nagwo tegulyaka.
11Ndibonereza ensi olw’okwonoona kw’ayo,
n’abakozi b’ebibi olw’ebyonoono byabwe.
Era ndimalawo okweyisa kw’ab’amalala
era nzikakkanya okwenyumiriza kw’abo abakambwe.
12Abantu ndibafuula abebbula
okusinga zaabu ennongoose eya ofiri.
13Noolwekyo ndikankanya eggulu,
era n’ensi ngiyuuguumye okuva mu kifo kyayo,
olw’obusungu bwa Mukama Katonda ow’Eggye,
ku lunaku lw’obusungu bwe obungi.

14Era ng’empeewo eyiggibwa,
ng’endiga eteriiko agirunda,
buli muntu aliddukira eri abantu be
buli muntu aliddukira mu nsi y’ewaabwe.
15Buli anaalabwangako ng’ekitala kimuyitamu,
buli gwe banaakwatangako ng’attibwa n’ekitala.
16N’abaana baabwe abawere banabetenterwanga mu maaso gaabwe nga balaba;
ennyumba zaabwe zinyagibwe, n’abakazi baabwe bakwatibwe olw’empaka.

17Laba, ndibayimbulira Abameedi,
abatafa ku ffeeza
era abateeguya zaabu.
18Emitego gyabwe girikuba abavubuka
era tebaliba na kisa eri abawere.
Amaaso gaabwe tegalisaasira baana bato.
19Ne Babulooni, ekitiibwa eky’obwakabaka,
obulungi obw’okwemanya kw’Abakaludaaya,
kiriba nga Sodomu ne Ggomola
Katonda bye yawamba.
20Tekiriddamu kusulwamu ennaku zonna,
so tekiribeerwamu emirembe n’emirembe,
so teri Muwalabu alisimbayo weema ye,
teri musumba aligalamizaayo ggana lye kuwummulirayo.
21Naye ensolo enkambwe ez’omu ddungu ze zinaagalamirangayo;
ennyumba zijjule ebintu ebiwoowoola;
bammaaya banaabeeranga eyo,
n’ebikulekule bibuukire eyo.
22N’empisi zinaakaabiranga mu bigulumu by’ebigo byabwe,
ebibe bikaabire mu mbiri zaabwe ezitemagana.
Ekiseera kyakyo kinaatera okutuuka,
ennaku ze teziryongerwako.
Copyright information for LugEEEE