Isaiah 2:4
4 aAlisala enkaayana z’amawanga,
aliramula emisango gy’abantu bangi,
era ebitala byabwe balibiwesaamu enkumbi,
n’amafumu gaabwe bagaweeseemu ebiwabyo.
Eggwanga teririyimusa kitala ku ggwanga linnaalyo,
so tebalyetegeka kulwana ntalo nate.