‏ Isaiah 21

Obunnabbi Obukwata ku Babulooni

1Obunnabbi obukwata ku Ddungu eririraanye ennyanja: Ng’embuyaga bwe zikunta nga ziyita mu nsi ey’obukiikaddyo,
bw’atyo alumba bw’ava mu ddungu
eririraanye ensi etiisa.

2Nfunye okwolesebwa okw’entiisa:
alyamu olukwe akola omulimu gwe, n’omunyazi anyaga.
Eramu, lumba! Obumeedi zingiza!
Ndikomya okusinda kwonna kwe yaleeta.

3Omubiri gwange kyeguvudde gulumwa,
n’obulumi bunkwata, ng’omukazi alumwa okuzaala;
nnyiize olw’ebyo bye mpulira,
bye ndaba bimazeemu amaanyi.
4Omutima gwange gutya,
Entiisa endetera okukankana;
Akasendabazaana ke nnali njayaanira,
kanfukidde ekikankano.

5Bateekateeka olujjuliro,
bayalirira ebiwempe,
ne balya, ne banywa!
Mugolokoke mmwe abakulembeze,
musiige engabo amafuta.

6Kino Mukama ky’aŋŋamba nti, “Genda ofune omukuumi
akuleetere amawulire ku ebyo by’alaba.
7Bw’alaba amagaali
n’ebibinja by’embalaasi,
n’abeebagazi ku ndogoyi
oba abeebagazi ku ŋŋamira
yeekuume,
era yeegendereze.”

8Awo omukuumi n’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka ng’agamba nti, “Mukama wange, buli lunaku nnyimirira ku munaala,
buli kiro mbeera ku mulimu gwange.
9Laba omusajja wuuno ajjira mu ggaali,
ng’alina n’ekibinja ky’embalaasi.
Era ayanukula bw’ati nti,
‘Babulooni kigudde, weewaawo kigudde.
Ebifaananyi bya bakatonda baakyo byonna
bibetenteddwa wansi ku ttaka.’ ”

10Abantu bange, abasesebbuddwa ku gguuliro,
mbategeeza kyempulidde okuva eri Mukama Katonda ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri.

Obunnabbi Obukwata ku Edomu

11Obunnabbi obukwata ku Duuma: Waliwo ankowoola okuva mu Seyiri ng’ayogera nti,
“Omukuumi, bunaakya ddi?
Omukuumi, bunaakya ddi?”
12Omukuumi ayanukula bw’ati nti,
“Bulikya, era buliziba.
Bw’obaako ne ky’obuuza kibuuze
okomewo nate.”

Obunnabbi Obukwata ku Buwalabu

13Obunnabbi obukwata ku Buwalabu: Mmwe Abadedeni abatambulira mu bibinja,
abasiisira mu bisaka bya Buwalabu,
14muleetere abalumwa ennyonta amazzi; mmwe ababeera mu Teema, muleetere abanoonyi b’obubudamu emmere.
15Badduka ekitala,
badduka ekitala ekisowole,
badduka omutego ogunaanuddwa,
badduka n’akabi k’entalo.

16Bw’ati Mukama bw’aŋŋamba nti, “Mu mwaka gumu, ng’endagaano gye bakolera omukozi bw’eba, ekitiibwa kyonna ekya Kedali kirikoma. 17Ku b’obusaale abaliwona, ne ku basajja abalwanyi abazira ab’e Kedali, walisigalawo batono.” Mukama Katonda wa Isirayiri ayogedde.
Copyright information for LugEEEE