Isaiah 35
Essanyu ly’Abanunule
1Eddungu n’ensi enkalu birijaguza;Eddungu lirisanyuka ne limeramu ebintu.
Ebimuli ebifaanana ng’ejjirikiti 2birimeruka,
birijaguza nnyo ne biwowogana n’essanyu mu ddoboozi ery’omwanguka.
Ekitiibwa kya Lebanooni kirigiweebwa,
ekitiibwa kya Kalumeeri ne Saloni;
baliraba ekitiibwa kya Mukama,
ekitiibwa kya Katonda waffe.
3Muzzeemu amaanyi emikono eminafu, n’amaviivi agajugumira mugagumye.
4Mugambe abo abalina omutima omuti nti,
Mubeere n’amaanyi temutya:
laba Katonda wammwe alijja;
alibalwanirira,
alage abalabe bammwe obusungu obw’Obwakatonda,
era alibalokola.
5Olwo amaaso g’abazibe galiraba,
era n’amatu ga bakiggala galigguka;
6omulema alibuuka ng’ennangaazi,
n’olulimi lw’abatayogera luliyimba n’essanyu.
Amazzi galifubutuka
ne gakulukutira mu lukoola n’emigga mu ddungu.
7N’omusenyu ogwokya gulifuuka ekidiba,
n’ensi eyakala edda n’etiiriika ensulo ez’amazzi.
Ebibe we byagalamiranga walimera omuddo,
n’essaalu, n’ebitoogo.
8Era eribaayo oluguudo olunene, n’ekkubo,
eririyitibwa Ekkubo Ettukuvu.
Abatali balongoofu tebaliriyitamu,
liriba ly’abali abalongoofu,
kubanga abasirusiru abatali balongoofu tebaliriyitamu.
9Teribaayo mpologoma,
so teririnnyayo nsolo yonna nkambwe;
tezirirabikayo,
naye abanunule balitambulira eyo.
10N’abantu ba Mukama abaanunulibwa balikomawo, ne bajja mu Sayuuni nga bayimba,
n’essanyu eritaggwaawo nga libajjudde.
Balifuna essanyu lingi nnyo n’okujaguza,
okunakuwala n’okusinda nga biggweereddewo ddala.
Copyright information for
LugEEEE