‏ Isaiah 40

Ebigambo eby’Essuubi

1Mugumye, mugumye abantu bange,
bw’ayogera Katonda wammwe.
2Muzzeemu Yerusaalemi amaanyi mumubuulire nti,
entalo ze ziweddewo,
n’obutali butuukirivu bwe
busasuliddwa.
Era Mukama amusasudde emirundi ebiri
olw’ebibi bye byonna.

3Eddoboozi ly’oyo ayogera
liwulikika ng’agamba nti,
“Muteeketeeke ekkubo lya Mukama mu ddungu,
mutereeze oluguudo lwe mu ddungu.
4Buli kiwonvu kirigulumizibwa,
na buli lusozi n’akasozi ne bikkakkanyizibwa.
N’obukyamu buligololwa,
ebifo ebitali bisende ne bitereezebwa.
5Ekitiibwa kya Mukama kiribikkulwa,
ne bonna abalina omubiri balikirabira wamu,
kubanga akamwa ka Mukama ke kakyogedde.”

6Ne mpulira eddoboozi nga ligamba nti,
“Yogera mu ddoboozi ery’omwanguka.”

Ne ŋŋamba nti, “Nnaayogera ki?” Ne linziramu nti, gamba nti,
“Abantu bonna bali nga muddo, n’obulungi bwabwe bumala ennaku ntono ng’ebimuli eby’omu nnimiro.
7Omuddo guwotoka, ekimuli kiyongobera,
omukka gwa Mukama bwe gugufuuwako.
Mazima abantu muddo.
8Omuddo guwotoka, ekimuli kiyongobera,
naye ekigambo kya Katonda waffe kibeerera emirembe gyonna.”

9Ggwe abuulira Sayuuni ebigambo ebirungi,
werinnyire ku lusozi oluwanvu;
ggwe abuulira Yerusaalemi ebigambo ebirungi,
yimusa eddoboozi lyo n’amaanyi, liyimuse oyogere, totya.
Gamba ebibuga bya Yuda nti, “Laba Katonda wammwe ajja!”
10Laba, Mukama Katonda ajja n’amaanyi mangi
era afuga n’omukono gwe ogw’amaanyi ag’ekitalo.
Laba empeera ye eri mu mukono gwe,
buli muntu afune nga bw’akoze.
11Aliisa ekisibo kye ng’omusumba,
akuŋŋaanya abaana b’endiga mu mukono gwe
n’abasitula mu kifuba kye,
n’akulembera mpola mpola ezibayonsa.
12Ani eyali ageze amazzi g’ennyanja mu kibatu kye,
n’apima eggulu n’oluta,
n’apima enfuufu y’oku nsi mu kibbo,
oba n’apima ensozi ku minzaani,
n’obusozi ku kipima?
13Ani eyali aluŋŋamizza Omwoyo wa Mukama?
Ani ayinza okumuyigiriza n’amuwa amagezi?
14Ani gwe yali yeebuuzizzako amuwe ku magezi,
era ani eyali amuyigirizza ekkubo ettuufu?
Ani eyali amusomesezza eby’amagezi n’amulaga okuyiga,
n’okumanya n’okutegeera?
15Laba amawanga gali ng’ettondo eriri mu nsuwa,
era ng’enfuufu ekutte ku minzaani,
apima ebizinga ng’apima olufuufu ku minzaani.
16N’ensolo zonna ez’omu kibira kya Lebanooni tezimala kubeera kiweebwayo eri Katonda waffe,
n’emiti gyamu gyonna mitono nnyo tegisobola kuvaamu nku zimala.
17Amawanga gonna ag’omu nsi
gabalibwa mu maaso ge,
gy’ali gabalibwa nga si kintu n’akamu.

18Kale ani gwe mulifaananya Katonda?
Oba kifaananyi ki kye mulimugeraageranyizaako?
19Ekifaananyi ekyole omukozi akifumba,
n’omuweesi wa zaabu n’akibikkako zaabu,
n’akibikkako n’emikuufu egya ffeeza.
20Oyo omwavu atasobola kufuna ffeeza
oba zaabu afuna omuti omugumu ogutavunda
ne yenoonyeza omukozi omugezigezi
okusimba n’okunyweza ekifaananyi ekyole.
21Temunnamanya,
temunnawulira,
temubuulirwanga
okuva ku kutondebwa kw’ensi?
22Katonda atuula ku nsi enneekulungirivu,
era gy’ali abantu bali ng’amayanzi.
Atimba eggulu ng’olutimbe
era alibamba ng’eweema ey’okubeeramu.
23Afuula abafuzi obutaba kintu,
afuula n’abalamuzi mu nsi okuba ekitaliimu.
24Bali ng’ebisimbe ebyakamera biba bya kasimbibwa,
biba byakasigibwa,
biba byakaleeta emirandira,
nga abifuuwa nga biwotoka,
ng’embuyaga ebitwalira ddala ng’ebisasiro.
25“Kale mulinfaananya ani,
ani gwe mulinnenkanya?” bw’ayogera Omutukuvu.
26Muyimuse amaaso gammwe mulabe ebiri ku ggulu.
Ani eyatonda ebyo byonna?
Oyo afulumya ebyaka eby’omu bbanga afulumya kina kimu,
byonna nga bwe biri, n’abiyita amannya gaabyo.
Olw’obukulu bw’obuyinza bwe era kubanga wa maanyi ga nsusso,
tewali na kimu kibulako.

27Lwaki ogamba ggwe Yakobo era ne wemulugunya ggwe Isirayiri nti,
Mukama tamanyi mitawaana gye mpitamu,
era tafaayo nga tuggyibwako
eddembe lyaffe ery’obwebange”?
28Tonnamanya?
Tonnawulira?
Mukama, ye Katonda ataliggwaawo.
Omutonzi w’enkomerero y’ensi.
Tazirika so takoowa
era n’amagezi ge tewali n’omu ayinza kugapima.
29Awa amaanyi abazirika,
n’oyo atalina buyinza amwongerako amaanyi.
30Abavubuka bazirika, bakoowa,
n’abalenzi bagwira ddala.
31Naye abo abalindirira Mukama
baliddamu buggya amaanyi gaabwe,
balitumbiira n’ebiwaawaatiro ng’empungu;
balidduka mbiro ne batakoowa,
balitambula naye ne batazirika.
Copyright information for LugEEEE