Isaiah 52
Katonda Alizzaawo Yerusaalemi
1Zuukuka, zuukuka,oyambale amaanyi go, ggwe Sayuuni.
Ggwe Yerusaalemi ekibuga ekitukuvu,
teekako ebyambalo byo ebitemagana.
Kubanga okuva leero mu miryango gyo
temukyayingira mu atali mukomole n’atali mulongoofu.
2Weekunkumuleko enfuufu,
yimuka otuule ku ntebe ey’obwakabaka ggwe Yerusaalemi.
Weesumulule enjegere mu bulago bwo,
ggwe Omuwala wa Sayuuni eyanyagibwa.
3Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Mwatundibwa bwereere
era mujja kununulibwa awatali kusasula nsimbi.”
4Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama Ayinzabyonna nti, “Omulundi ogwasooka abantu bange baagenda e Misiri okusengayo,
oluvannyuma, Omwasuli n’abajooga.
5“Kaakano kiki ate kye ndaba wano? “Kubanga abantu bange baatwalirwa bwereere
era abo ababafuga babasekerera,”
bw’ayogera Mukama.
“Erinnya lyange
livvoolebwa olunaku lwonna.
6Mu biseera ebijja abantu bange balimmanya.
Olunaku lujja lwe balitegeera nga nze nakyogera.
Weewaawo, Nze.”
7Nga birungi ku nsozi ebigere by’oyo aleeta amawulire amalungi,
alangirira emirembe,
aleeta ebigambo ebirungi,
alangirira obulokozi,
agamba Sayuuni nti, “Katonda wo afuga.”
8Wuliriza!
Amaloboozi g’abakuumi bo gawulikika, gayimusiddwa.
Bonna awamu bajaguza olw’essanyu.
Kubanga okudda kwa Mukama mu Sayuuni balikulaba n’amaaso gaabwe.
9Mubaguke okuyimba ennyimba ez’essanyu mwenna,
mmwe ebifo bya Yerusaalemi ebyazika.
Kubanga Mukama asanyusizza abantu be,
anunudde Yerusaalemi.
10 Mukama aliraga omukono gwe omutukuvu eri amawanga gonna,
bagulabe.
Enkomerero z’ensi zonna
ziriraba obulokozi bwa Katonda waffe.
11Mugende, mugende muveewo awo.
Temukwata ku kintu kyonna kitali kirongoofu.
Mukifulumemu mubeere balongoofu
mmwe abasitula ebyombo bya Mukama.
12Naye temulivaamu nga mwanguyiriza
so temuligenda nga mudduka;
kubanga Mukama alibakulembera abasookeyo;
Katonda wa Isirayiri y’alibakuuma.
Okubonaabona n’Ekitiibwa ky’Omuweereza wa Mukama
13Laba, omuweereza wange by’akola alibikozesa magezi,aliyimusibwa asitulibwe, era assibwemu nnyo ekitiibwa.
14Ng’abaamulaba ne bennyamira bwe baali abangi,
endabika ye ng’eyonoonese nnyo nga takyafaananika,
era ng’eyonoonese evudde ku y’abantu,
15bw’atyo bw’anawuniikiriza amawanga mangi;
bakabaka balibunira ku lulwe;
kubanga ekyo ekitababulirwanga balikiraba,
era ekyo kye batawulirangako, balikitegeera.
Copyright information for
LugEEEE