Isaiah 8
Mukama Akozesa Bwasuli Okubonereza Isirayiri
1Awo Mukama Katonda n’aŋŋamba nti, “Kwata ekipande ekinene okiwandiikeko n’ekkalaamu nti: Kya Makerusalalukasubazi.” 2Ne ndyoka neeyitira abajulirwa abeesigwa, Uliya kabona, ne Zekkaliya omwana wa Yeberekiya. 3Ne ŋŋenda eri nnabbi omukazi, n’aba olubuto, n’azaala omwana wabulenzi. Mukama Katonda n’alyoka agamba nti, “Mmutuume erinnya Makerusalalukasubazi. 4Kubanga omwana nga tannamanya kugamba nti, ‘Taata’, oba ‘Maama’, obugagga bw’e Ddamasiko n’omunyago gwe Samaliya birinyagibwa kabaka w’e Bwasuli.” 5 Mukama Katonda n’addamu n’ayogera nange nti, 6“Kubanga abantu bano bagaanyeamazzi g’e Sirowa agakulukuta empolampola, ▼
▼Amazzi agoogerebwako wano ge mazzi agava mu Gikoni (2By 32:4-30) agakozesebwa wakati mu kibuga Yerusaalemi
ne bajaguza olwa Lezini
ne mutabani wa Lemaliya,
7kale nno Mukama anaatera okubaleetako
amazzi ag’Omugga, ag’amaanyi era amayitirivu,
ye kabaka w’e Bwasuli n’ekitiibwa kye kyonna;
galisukka ensalosalo zonna,
ne ganjaala ku ttale lyonna.
8Era galyeyongera ne ganjaala mu Yuda,
galyanjaala ne gamuyitamu gakome ne mu bulago,
n’emikutu gyago gyegolole okujjuza ensi yo,
ggwe Emmanweri.”
9Muyimbe ennyimba z’entalo mmwe amawanga naye mwekaabire.
Mutege amatu mmwe mwenna ab’ensi ezeewala;
mwenyweze naye mwekaabire;
mwenyweze naye mwekaabire.
10Muteese enkola yammwe, naye yakugwa butaka,
mwogere ekigambo naye tekirituukirira.
11Kubanga Mukama Katonda yayogera nange ng’antaddeko omukono gwe ogw’amaanyi, ng’andabula nneme okugoberera ekkubo ly’abantu bano, ng’aŋŋamba nti, 12“Ebintu byonna abantu bano bye bayita enkwe,
temubiyita nkwe,
era temutya bye batya,
wadde okutekemuka ▼
▼Abantu bwe baawulira nti waliwo omukago wakati wa Isirayiri ne Bwasuli, ne batya nnyo.
omutima.13Naye mujjukire nti nze Mukama Katonda ow’Eggye, nze Mutukuvu,
nze gwe muba mutya,
era gwe muba mwekengera.
14Olw’obutukuvu eri ennyumba zombi eza Isirayiri
aliba ejjinja era olwazi kwe bagwa,
era alibeera omutego era ekyambika eri ab’omu Yerusaalemi.
15Era bangi abaliryesittalako,
bagwe, bamenyeke,
bategebwe bakwatibwe.”
16Nyweza obujulirwa
okakase amateeka mu bayigirizwa bange.
17Nange nnaalindirira Mukama Katonda
akwese amaaso ge okuva ku nnyumba ya Yakobo,
mmunoonye n’essuubi.
18Laba, nze n’abaana Mukama Katonda bampadde tuli bubonero n’ebyewuunyo mu Isirayiri obuva eri Mukama Katonda ow’Eggye, abeera ku lusozi Sayuuni. 19Abantu bwe babagamba nti mwebuuze ku abo abaliko emizimu, n’abasamize abakaaba ng’ennyonyi era abajoboja, eggwanga tekirigwanira kwebuuza ku Katonda waalyo? Lwaki ebikwata ku balamu mubibuuza abafu? 20Tudde eri amateeka n’obujulirwa! Bwe baba teboogera bwe batyo, mazima obudde tebugenda kubakeerera. 21Era baliyita mu nsi nga beeraliikirira nnyo nga balumwa enjala; era enjala bweriyitirira okubaluma ne banyiiga era nga batunudde waggulu balikolimira kabaka ne Katonda waabwe. 22Era bwe balitunula ku nsi baliraba nnaku na kizikiza, n’entiisa ey’okubonaabona basuulibwe mu kizikiza ekikutte zigizigi.
Copyright information for
LugEEEE