Jeremiah 6
Abeesigwa Bagambibwa Okudduka
1Mwekuŋŋaanye mudduke mmwe abantu ba Benyamini!Mmudduke muve mu Yerusaalemi.
Fuuwa ekkondeere mu Tekowa,
era yimusa ebbendera mu Besukakkeremu:
kubanga akacwano kasinzidde mu bukiikakkono,
okuzikirira okw’entiisa.
2Ndizikiriza omuwala wa Sayuuni,
omulungi oyo omubalagavu.
3Abasumba balimulumba n’ebisibo byabwe.
Balimwetoolooza weema zaabwe zimwolekere enjuuyi zonna,
buli omu yeezimbire w’ayagala.
4“Mwetegeke mumulwanyise!
Muyimuke, tumulumbe mu ttuntu!
Naye, nedda, omusana gugenda guggwaayo,
n’ebisiikirize by’akawungeezi biwanvuye!
5Tugende, tulumbe kiro
tuzikirize amayumba ge.”
6Bw’ati Mukama Katonda ow’Eggye bw’agamba nti, “Muteme emiti mukole entuumo
muzingize Yerusaalemi.
Ekibuga kino kiteekwa okubonerezebwa kyonna,
kubanga kijjudde bujoozi bwerere.
7Ng’oluzzi bwe lukulukusa amazzi, bwe kityo bwe kikulukusa ebibi byakyo,
entalo era n’okuzikirira biwulirwa munda waakyo.
Obulwadde n’ebiwundu
bye ndaba buli bbanga.
8Nkulabula,
ggwe Yerusaalemi,
emmeeme yange ereme okwawukana naawe,
si kulwa ng’ofuuka amatongo.”
9Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti, “Balisusumbulira ddala n’abo abatono
abaliba basigaddewo mu Isirayiri.
Ddamu oyise omukono mu matabi
ng’omunozi we zabbibu bw’akola.”
10Ndyogera eri ani gwe ndirabula?
Ani alimpuliriza?
Amatu gaabwe gagaddwa
ne batasobola kuwulira.
Ekigambo kya Mukama kiri nga kyakusesa gye bali,
tebakisanyukira n’akamu.
11Kyenva nzijula ekiruyi
sikyasobola kukizibiikiriza.
“Kiyiwe ku baana abali mu luguudo,
ne ku bavubuka abakuŋŋaanye;
abaami awamu n’abakazi n’abakadde
abo abawezezza emyaka emingi baliwambibwa.
12Enju zaabwe
ziritwalibwa abalala,
n’ennimiro zaabwe awamu ne bakazi baabwe;
kubanga ndigolola omukono gwange ku abo abali mu nsi,”
bw’ayogera Mukama.
13“Kubanga okuva ku asembayo wansi okutuusa ku asingayo waggulu,
buli omu alulunkanira kufuna.
Nnabbi ne kabona bonna
boogera eby’obulimba.
14Ekiwundu ky’abantu bange
bakijjanjaba ng’ekitali ky’amaanyi.
Boogera nti, ‘Mirembe, mirembe.’
So nga tewali mirembe.
15Bakwatibwa ensonyi olw’ebikolwa byabwe eby’emizizo?
Nedda.
Tebakwatibwa nsonyi n’akatono.
Noolwekyo baligwira wamu n’abo abaligwa;
balisuulibwa wansi bwe ndibabonereza,”
bw’ayogera Mukama.
16Kino Mukama ky’agamba nti, “Yimirira mu masaŋŋanzira otunule.
Buuza amakubo ag’edda, buuza ekkubo eddungi gye liri,
era otambulire omwo,
emmeeme yammwe erifuna ekiwummulo.
Naye ne mugamba nti, ‘Tetujja kulitambuliramu.’
17Nabateerawo abakuumi babategeeze nti,
Muwulirize eddoboozi ly’ekkondeere,
naye ne mugamba nti, ‘Tetujja kuwuliriza.’
18Kale muwulire,
mmwe amawanga
era mulabe mmwe ab’ekkuŋŋaaniro ekyo ekiribatuukako.
19Wuliriza, ggwe ensi:
laba, ndeeta akabi ku bantu bano,
by’ebibala by’enkwe zaabwe,
kubanga tebafuddeeyo ku bigambo byange
n’etteeka lyange baligaanye.
20Omugavu oguva e Seeba bampa gwa ki?
Oba zino emmuli ezakaloosa eziva mu nsi ey’ewala?
Ebiweebwayo byammwe ebyokebwa sijja kubikkiriza,
n’essaddaaka zammwe tezinsanyusa.”
21Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Laba nditeeka enkonge mu maaso g’abantu bano;
bakitaabwe ne batabani baabwe bonna bazesittaleko.
Muliraanwa we ne mukwano gwe balizikirira.”
22Bw’ati bw’ayogera Mukama, nti, “Laba, eggye lijja
eriva mu nsi ey’omu bukiikakkono,
eggwanga ery’amaanyi
liyimusibwa okuva ku nkomerero z’ensi.
23Bakutte omutego n’effumu,
abakambwe abatalina kusaasira.
Bawulikika ng’ennyanja ewuuma,
nga beebagadde embalaasi zaabwe:
bajja ng’abalwanyi mu byambalo by’olutalo
okulumba ggwe Muwala wa Sayuuni!”
24Tuwulidde ettutumu lyabwe;
era emikono gyaffe giweddemu amaanyi
okulumwa okunene kutukutte
n’okulumwa ng’okw’omukazi alumwa okuzaala.
25Togeza kugenda mu nnimiro
newaakubadde okutambulira mu kkubo;
kubanga omulabe abunye wonna wonna
n’entiisa ejjudde mu bantu.
26Kale nno mmwe abantu,
mwambale ebibukutu era mwevulunge mu vvu;
mukungubage ng’abakaabira
omwana owoobulenzi omu yekka.
Kubanga oyo agenda okuzikiriza
ajja kutugwako mavumbavumba.
27“Nkufudde ekigezesa
abantu bange n’ekyuma,
osobole okulaba n’okugezesa
amakubo gaabwe.
28Bonna bakyewaggula
abakakanyavu abagenda bawaayiriza,
bikomo era kyuma,
bonna boonoonefu.
29Emivubo bagifukuta n’amaanyi,
omuliro gumalawo essasi,
naye balongoosereza bwereere
kubanga ababi tebaggyibwamu.
30Baliyitibwa masengere ga ffeeza,
kubanga Mukama abalese.”
Copyright information for
LugEEEE