Job 10
1“Obulamu bwange mbukyayidde ddala,noolwekyo leka nfukumule okwemulugunya kwange,
njogerere mu kulumwa kw’emmeeme yange.
2Nnaagamba Katonda nti, Tonsalira musango ne gunsinga,
ntegeeza ky’onvunaana.
3Kikusanyusa okunnyigiriza,
okunyooma omulimu gw’emikono gyo,
n’owagira emirimu gy’abakozi b’ebibi?
4Amaaso go ga mubiri?
Olaba ng’omuntu bw’alaba?
5Ennaku zo zisinga ez’omuntu,
n’emyaka gyo gisinga egy’omuntu,
6olyoke onoonye ebisobyo byange
era obuulirize ekibi kye nkoze,
7newaakubadde ng’omanyi nti sirina musango
era nga tewali n’omu ayinza kunzigya mu mukono gwo?
8“Emikono gyo gye gyammumba, gye gyankola.
Ate kaakano onookyuka okunsanyaawo?
9Jjukira nti wammumba ng’ebbumba,
ate kaakano onoonfuula ng’enfuufu?
10Tewanzitulula ng’amata
n’onkwasa ng’omuzigo?”
11Tewannyambaza omubiri n’olususu,
n’oluka amagumba n’ebinywa n’ongatta?
12Kale wampa okuganja mu maaso go,
era walabirira, n’omwoyo gwange.
13Naye bino wabikweka mu mutima gwo,
era mmanyi nga byali mu birowoozo byo.
14Singa nyonoona, ondaba
era tewandindese n’otombonereza.
15Bwe mba nga nsingibbwa omusango,
zinsanze nze!
Newaakubadde nga sirina musango, sisobola kuyimusa mutwe gwange,
kubanga nzijjudde obuswavu era mu kunyigirizibwa kwange, mwe nsaanikiddwa.
16Bwe mba ng’asituka, n’onjigga ng’empologoma,
era n’onnumba n’amaanyi go amangi ennyo.
17Oleeta abajulizi abajja okunnumiriza,
era obusungu bwo ne bweyongera gye ndi;
amayengo ne gajja okunnumba olutata.
18“Kale lwaki wanziggya mu lubuto lwa mmange?
Wandindese nga tewannabaawo liiso lyonna lindabyeko.
19Singa satondebwa,
oba singa natwalibwa butereevu okuva mu lubuto ne nzikibwa.
20Ennaku zange entono kumpi teziweddeeko?
Ndeka mbeeko n’akaseera ak’okusanyuka,
21nga sinnaba kugenda mu kifo eteri kudda,
ekiri mu nsi ejjudde ekizikiza, n’ekisiikirize eky’ebuziba,
22y’ensi ey’ekizikiza ekikutte, eyeekisiikirize eky’ebuziba
era n’okutabukatabuka,
ng’omusana gwayo guli nga ekizikiza.”
Copyright information for
LugEEEE