Job 11
Zofali Ayogera
1Awo Zofali Omunaamasi n’ayogera nti, 2“Ebigambo ebyo byonna bisigale nga tebiddiddwamu?Omwogezi ono anaabalibwa ng’ataliiko musango?
3Okwogera kwo okutaliimu kunaatusirisa?
Oduule bw’otyo wabulewo akunenya?
4Ogamba Katonda nti, ‘Ebirowoozo byange tebirina nsobi,
era ndi mutukuvu mu maaso go.’
5Naye, singa Katonda ayogera,
singa abikkula akamwa ke n’akuddamu,
6n’akubikkulira ebyama by’amagezi;
kubanga amagezi amatuufu ddala galiko enjuuyi bbiri.
Manya kino: Katonda n’okwerabira yeerabira ebimu ku bibi byo.
7“Osobola okupima ebyama bya Katonda?
Oyinza okunoonyereza ku Ayinzabyonna n’omumalayo?
8Bigulumivu okusinga eggulu, kiki ky’osobola okukola?
Bikka okusinga obuziba bw’emagombe, kiki ky’osobola okumanya?
9Obuwanvu bwabyo businga ensi
era bugazi okusinga ennyanja.
10“Singa ajja n’akusibira mu kkomera era n’atuuza olukiiko,
ani ayinza okumuwakanya?
11Mazima ddala amanya abantu abalimba.
Bw’alaba ebibi, tabifaako?
12Naye omuntu omusirusiru, talifuna magezi,
ng’omwana gw’endogoyi ogw’omu nsi bwe gutayinza kuzaalibwa nga gusobola okufugibwa.
13“Naye bw’owaayo omutima gwo gy’ali,
n’ogolola emikono gyo gy’ali,
14singa oggyawo ekibi ekiri mu mukono gwo,
n’otokkiriza kibi kubeera mu weema yo,
15olwo onoositula omutwe n’obwenyi bwo nga tokwatibwa nsonyi,
era oyimirire ng’oli munywevu awatali kutya.
16Mazima ddala ojja kwerabira emitawaana gyo,
olijjukira bujjukizi ng’amazzi agaayita edda.
17Obulamu bujja kwaka okusinga omusana ogw’omu ttuntu,
n’ekizikiza kijja kufuuka ng’obudde obw’oku nkya.
18Olibeera munywevu, kubanga olibeera n’essuubi;
olitunuulira ebikwetooloodde n’owummulira mu mirembe.
19Oligalamira nga tewali n’omu akutiisa,
era bangi abalikunoonyaako omukisa.
20Naye amaaso g’abakozi b’ebibi galiremererwa,
era tebalisobola kuwona,
essuubi lyabwe libeere ng’omukka ogw’enkomerero.”
Copyright information for
LugEEEE