Job 17
1Omutima gwange gwennyise,ennaku zange zisalibbwaako,
entaana enninze.
2Ddala abansekerera bannetoolodde;
amaaso gange gabeekengera.
3“Ompe, Ayi Katonda akakalu k’onsaba.
Ani omulala ayinza okunneeyimirira?
4Ozibye emitima gyabwe obutategeera;
noolwekyo toobakkirize kuwangula.
5Omusajja avumirira mikwano gye olw’empeera
alireetera amaaso g’abaana be okuziba.
6“Katonda anfudde ekisekererwa eri buli omu,
anfudde buli omu gw’afujjira amalusu mu maaso.
7Amaaso gange gayimbadde olw’okunakuwala;
omubiri gwange gwonna kaakano guli nga kisiikirize.
8Abantu ab’amazima beesisiwala olwa kino;
atalina musango agolokokedde ku oyo atatya Katonda.
9Naye era abatuukirivu banaakwatanga amakubo gaabwe,
n’abo ab’emikono emirongoofu baneeyongeranga amaanyi.
10“Naye mukomeewo mwenna kaakano, mujje,
naye siraba muntu mugezi mu mmwe!
11Ennaku zange ziyise entegeka zange zoonoonese,
era bwe kityo n’okwegomba kw’omutima gwange.
12Abantu bano ekiro bakifuula emisana;
mu kizikiza mwennyini mwe bagambira nti, Ekitangaala kinaatera okujja.
13Amagombe bwe gaba nga ge maka mwe nnina essuubi,
bwe njala obuliri bwange mu kizikiza,
14ne ŋŋamba amagombe nti, ‘Ggwe kitange,’
era n’eri envunyu nti, ‘Ggwe mmange,’ oba nti, ‘Ggwe mwannyinaze,’
15kale essuubi lyange liba ludda wa?
Ani ayinza okuliraba?
16Nalyo lirigenda eri enzigi z’emagombe
Oba tuligenda ffenna mu nfuufu?”
Copyright information for
LugEEEE