Job 18
Birudaadi Ayanukula
1Awo Birudaadi Omusukusi n’ayanukula n’agamba nti, 2“Mulikomya ddi okufuulafuula ebigambo?Muddeemu amagezi, tulyoke twogere.
3Lwaki tutwalibwa ng’ente
era ne tulowoozebwa okuba abasirusiru mu maaso gammwe?
4Ggwe eyeyuzayuza olw’obusungu,
abantu ensi bagiveeko ku lulwo, oba enjazi zive mu bifo byazo?
5“Ddala etabaaza y’omukozi w’ebibi ezikidde,
era n’omuliro gw’ekyoto kye tegukyayaka.
6Ekitangaala kivudde mu weema ye;
n’ettaala eri ku mabbali ge nayo ezikidde.
7Amaanyi gamuwedde, ebigere bye tebikyali bya maanyi,
era enkwe ze, ze zimusuula.
8Eky’amazima ebigere bye byamusuula mu kitimba
era n’atangatanga mu butimba.
9Omutego gumukwata ekisinziiro;
akamasu ne kamunyweeza.
10Omuguwa gumukwekerwa mu ttaka;
akatego kamulindirira mu kkubo lye.
11Entiisa emukanga enjuuyi zonna
era n’emugoba kigere ku kigere.
12Emitawaana gimwesunga;
ekikangabwa kirindiridde okugwa kwe.
13Kirya ebitundu by’olususu lwe;
omubereberye wa walumbe amulyako emikono n’ebigere.
14Aggyibwa mu bukuumi bwa weema ye
era n’atwalibwa eri kabaka w’ebikangabwa.
15Omuliro gumalirawo ddala byonna eby’omu weema ye;
ekibiriiti kyakira mu kifo mw’abeera.
16Emirandira gye gikala wansi,
n’amatabi ge gakala waggulu.
17Ekijjukizo kye kibula ku nsi;
talina linnya mu nsi.
18Agobebwa okuva mu kitangaala, agenda mu kizikiza
n’aggyibwa mu nsi.
19Talina mwana wadde omuzzukulu mu bantu be,
newaakubadde ekifo mwabeera.
20Abantu ab’ebugwanjuba beewuunya ebyamutuukako;
n’ab’ebuvanjuba ne bakwatibwa ekikangabwa.
21Ddala bw’etyo bw’ebeera ennyumba y’omukozi w’ebibi;
bwe gaba bwe gatyo amaka g’oyo atamanyi Katonda.”
Copyright information for
LugEEEE