Job 19
Yobu Amuddamu
1Awo Yobu n’addamu nti: 2“Mulikomya ddi okunnyigirizane mummenya n’ebigambo?
3Emirundi kkumi nga munvuma;
temukwatiddwa nsonyi kunnumba.
4Bwe kiba nga kituufu nti nawaba,
obukyamu bwange, bwange nzekka.
5Bwe muba munneegulumiririzaako
ne mukozesa obulumi bwange okunfeebya,
6mumanye nga Katonda ankoze bubi
era anzingizza mu kitimba kye.
7“Wadde nga nkaaba nti, ‘Mpisiddwa bubi,’ siddibwamu;
ne bwe nkuba enduulu, tewali antaasa.
8Azibye ekkubo lyange sisobola kuyita;
amakubo gange agalese mu kizikiza.
9Anziggyeeko ekitiibwa kyange
n’anziggyako n’engule ku mutwe gwange.
10Anjuzaayuza ku buli ludda okutuusa lwe watasigalawo kantu,
asigula essuubi lyange ng’omuti.
11Obusungu bwe bumbubuukirako;
ambala ng’omu ku balabe be.
12Amaggye ge galumba n’amaanyi;
ganzimbako enkomera
ne gagumba okwetooloola weema yange.
13“Anziggyeeko baganda bange;
abo bwe twali tumanyiganye banviiriddeko ddala.
14Ab’ekika kyange banviiriddeko ddala,
mikwano gyange ginneerabidde.
15Abagenyi bange n’abaweereza bange abawala, bampisa nga gwe batamanyi,
ne bandaba nga munnagwanga.
16Mpita omuddu wange naye tawulira,
wadde nga mwegayirira n’akamwa kange.
17Omukka gwange gwe nzisa, guwunyira bubi mukyala wange;
nakyayibwa baganda bange bennyini.
18N’obulenzi obuto bunsekerera;
buli lwe bundaba bunvuma.
19Mikwano gyange gyonna enfirabulago gya nkyawa;
abo be nnayagalanga banneefuukira.
20Siriiko bwe ndi wabula ndi ddiba na magumba:
nsigazzaawo bibuno byokka.
21“Munkwatirwe ekisa mikwano gyange, munkwatirwe ekisa,
kubanga omukono gwa Katonda gunkubye.
22Lwaki munjigga nga Katonda bw’anjigga?
Omubiri gwe mufunye tegumala?
23“Singa nno ebigambo byange byawandiikibwa,
Singa byawandiikibwa ku muzingo, bandiguwadde ani?
24Singa byawandiikibwa n’ekyuma ku lubaati,
oba okuwandiikibwa ku lwazi ne bibeerawo emirembe n’emirembe!
25Mmanyi nga Omununuzi wange mulamu,
era nga ku nkomerero aliyimirira ku nsi.
26Era ng’olususu lwange bwe luweddewo,
kyokka mu mubiri gwange ndiraba Katonda;
27nze mwene ndimulaba,
n’amaaso gange, Nze, so si mulala.
Emmeeme yange ng’eyaayaana munda mu nze!
28“Bwe mugamba nti, ‘Tujja kumuyigganya,
kubanga ensibuko y’emitawaana eri mu ye;’
29nammwe bennyini musaana mutye ekitala.
Kubanga obusungu buleeta okubonereza okw’ekitala,
olwo mulyoke mumanye ng’eriyo okusalirwa omusango.”
Copyright information for
LugEEEE