Job 20
Zofali Addamu
1Awo Zofali Omunaamasi n’amuddamu nti, 2“Ebirowoozo byange ebiteganyiziddwa binkubiriza okukuddamukubanga nteganyizibbwa nnyo.
3Mpulidde nga nswadde olw’okunenya,
okutegeera kwange kunkubiriza okuddamu.
4“Ddala omanyi nga bwe byali okuva edda,
okuva omuntu lwe yateekebwa ku nsi,
5nti Enseko z’omwonoonyi ziba z’akaseera katono,
era n’essanyu ly’abatamanyi Katonda terirwawo.
6Newaakubadde ng’amalala ge gatuuka ku ggulu
n’omutwe gwe ne gutuuka ku bire,
7alizikirira emirembe n’emirembe nga empitambi ye:
abo abamulaba babuuze nti, ‘Ali ludda wa?’
8Abulawo ng’ekirooto, n’ataddayo kulabika;
abuzeewo ng’okwolesebwa kw’ekiro.
9Eriiso eryamulaba teririddayo kumulaba,
taliddayo kulaba kifo kye nate.
10Abaana be basaana bakolagane n’abaavu,
emikono gye gyennyini gye gisaana okuwaayo obugagga bwe.
11Amaanyi ag’ekivubuka agajjudde amagumba ge,
ge ganaagalamiranga naye mu nfuufu.
12“Okukola ebibi kuwoomerera mu kamwa ke
era akukweka wansi w’olulimi lwe,
13tayagala kukuleka,
wadde okukuta era akukuumira mu kamwa ke.
14Naye emmere ye erimwonoonekera mu byenda,
era erifuuka butwa bwa nsweera munda ye.
15Aliwandula eby’obugagga bye yamira;
Katonda alireetera olubuto lwe okubisesema.
16Alinywa obutwa bw’ensweera;
amannyo g’essalambwa galimutta.
17Alisubwa obugga,
n’emigga egikulukuta n’omubisi gw’enjuki n’amata.
18Bye yateganira alina okubiwaayo nga tabiridde;
talinyumirwa magoba ga kusuubula kwe,
19kubanga yanyigiriza abaavu n’abaleka nga bakaaba,
yawamba amayumba g’ataazimba.
20“Ddala ddala talifuna kikkusa mululu gwe,
wadde okuwonya n’ebyo bye yeeterekera.
21Tewali kimulekeddwawo ky’anaalya;
obugagga bwe tebujja kusigalawo.
22Wakati mu kufuna ebingi okulaba ennaku kumujjira;
alibonaabonera ddala nnyo.
23Ng’amaze okujjuza olubuto lwe,
Katonda alyoke amusumulurire obusungu bwe amukube ebikonde ebitagambika.
24Bw’alidduka ekyokulwanyisa eky’ekyuma,
akasaale ak’ekikomo kalimufumita.
25Akasaale kaliviirayo mu mugongo gwe,
omumwa gwako ogumasamasa gusikibwe mu kibumba.
Entiisa erimujjira.
26Ekizikiza ekikutte kye kirindiridde obugagga bwe.
Omuliro ogutazikira gwe gulimumalawo,
gwokye ebisigadde mu weema ye.
27Eggulu liryolesa obutali butuukirivu bwe;
ensi erimusitukirako n’emujeemera.
28Ebintu by’ennyumba biritwalibwa,
biribulira ku lunaku lw’obusungu bwa Katonda.
29Eyo y’engeri Katonda gy’asasulamu abakozi b’ebibi,
nga gwe mugabo Katonda gwe yabategekera.”
Copyright information for
LugEEEE