Job 21
Yobu Ayanukula
1Awo Yobu n’addamu n’ayogera nti, 2“Muwulirize n’obwegendereza ebigambo byange,era kino kibazzeemu amaanyi.
3Mungumiikirizeeko nga njogera,
oluvannyuma museke.
4“Okwemulugunya kwange nkw’olekezza muntu?
Lwaki okugumiikiriza tekunzigwako?
5Muntunuulire mwewuunye,
mujja kukwata ne ku mumwa.
6Bwe ndowooza ku kino, nfuna entiisa;
omubiri gwange ne gukankana.
7Lwaki abakozi b’ebibi bawangaala,
ne bakaddiwa ne beeyongera n’amaanyi?
8Balaba abaana baabwe bwe banywezebbwa,
ezzadde lyabwe nga balaba.
9Amaka gaabwe gaba n’emirembe nga temuli kutya;
omuggo gwa Katonda tegubabeerako.
10Ennume zaabwe teziremererwa,
ente zaabwe enkazi zizaala awatali kusowola mwana gwazo.
11Abaana baabwe bagendera wamu nga kisibo;
obuto ne bubeera mu kuzina.
12Bayimbira ku bitaasa n’ennanga,
ne basanyukira eddoboozi ly’omulere.
13Emyaka gyabwe gyonna babeera bulungi,
mangwago ne bakka mu ntaana.
14Kyokka bagamba Katonda nti, ‘Tulekere emirembe gyaffe!
Tetwegomba kumanya makubo go.
15Ayinzabyonna ye ani tulyoke tumuweereze?
Kiki kye tuganyulwa bwe tumusaba?’
16Naye obugagga bwabwe tebuli mu mikono gyabwe,
noolwekyo amagezi g’abakozi b’ebibi ganneewunyisa.
17“Ettaala y’abakozi b’ebibi yo, ezikira emirundi emeka?
Ennaku ebajjira emirundi emeka?
Katonda abatuusaako obulumi, ng’abasunguwalidde.
18Bali ng’ebisasiro ebitwaalibwa empewo;
ng’ebisusunku embuyaga bye zitwala.
19Katonda abonereza abaana olw’ekibi kya bakitaabwe.
Asasule omuntu yennyini oyo alyoke ategeere!
20Leka amaaso ge ye yennyini galabe okuzikirira;
leka anywe ku kiruyi kya Ayinzabyonna.
21Kubanga aba afaayo ki ku maka g’aba alese,
nga emyezi gye egyamutegekerwa giweddeko?
22“Eriyo ayinza okuyigiriza Katonda amagezi,
kubanga asalira omusango n’abo abasinga okuba aba waggulu?
23Omusajja omu afiira w’abeerera ow’amaanyi,
nga munywevu ddala ali mu mirembe gye,
24omubiri gwe nga guliisiddwa bulungi,
amagumba ge nga gajjudde obusomyo.
25Omusajja omulala n’afa ng’alina obulumi ku mutima,
nga teyafuna kintu kyonna kirungi.
26Ne beebaka kye kimu mu ttaka,
envunyu ne zibabikka bombi.
27“Mmanyi bulungi ddala kye mulowooza,
enkwe ze mwagala okunsalira.
28Mugamba nti, ‘Kaakano eruwa ennyumba y’omusajja ow’amaanyi,
eweema abasajja abakozi b’ebibi mwe baabeeranga?’
29Temwebuuzanga ku abo abatambula eŋŋendo?
Temukkiriza bye babagamba,
30nti omusajja omukozi w’ebibi awona ku lunaku olw’emitawaana,
era awona ku lunaku olw’ekiruyi?
31Ani avumirira ebikolwa bye maaso ku maaso,
ani amusasula ebyo by’akoze?
32Atwalibwa ku ntaana,
era amalaalo ge gakuumibwa.
33Ettaka eriri mu lusenyi limuwoomera,
abantu bonna bamugoberera,
n’abalala abatamanyiddwa muwendo ne bamukulembera.
34“Kaakano musobola mutya okuŋŋumya n’ebitaliimu?
Tewali kisigaddeyo ku bye mwanzizeemu wabula obulimba!”
Copyright information for
LugEEEE