Job 23
Yobu Ayanukula
1Awo Yobu n’addamu nti, 2“N’okutuusa leero okwemulugunya kwange kubalagala,omukono gwe gunzitoowerera wadde mbadde mu kusinda.
3Singa nnali mmanyi aw’okumusanga
nandisobodde okulaga gy’abeera!
4Nanditutte empoza yange gy’ali,
akamwa kange nga nkajjuzizza ensonga zange.
5Nanditegedde kye yandinzizeemu,
ne neetegereza kye yandiŋŋambye.
6Yandimpakanyizza n’amaanyi mangi?
Nedda, teyandinteeseko musango.
7Eyo omuntu omutuukirivu asobola okutwalayo ensonga ye,
era nandisumuluddwa omulamuzi wange emirembe n’emirembe.
8“Bwe ŋŋenda ebuvanjuba, nga taliiyo;
ne bwe ŋŋenda ebugwanjuba, simusangayo.
9Bw’aba akola mu bukiikakkono simulaba,
bw’adda mu bukiikaddyo, simulabako.
10Naye amanyi amakubo mwe mpita,
bw’anaamala okungezesa, nzija kuvaamu nga zaabu.
11Ebigere byange bimugoberedde;
ntambulidde mu makubo ge nga sikyamakyama.
12Saava ku biragiro by’akamwa ke.
Nayagala ebigambo by’akamwa ke okusinga emmere yange gyendya bulijjo.
13“Naye yeemalirira, ani ayinza okumuwakanya?
Akola kyonna ekimusanyusa.
14Weewaawo ajja kutuukiriza by’asazzeewo okunjolekeza,
era bingi byategese by’akyaleeta.
15Kyenva mba n’entiisa nga ndi mu maaso ge;
bwe ndowooza ku bino byonna, ne mmutya.
16Katonda anafuyizza nnyo omutima gwange,
Ayinzabyonna antiisizza nnyo.
17Naye ekizikiza tekinsirisizza,
ekizikiza ekikutte ennyo ekibisse amaaso gange.”
Copyright information for
LugEEEE