‏ Job 26

Yobu Ayanukula

1Awo Yobu n’addamu nti, 2“Ng’oyambye oyo atalina maanyi!
Ng’oyambye omukono ogwo ogutalina maanyi!
3Ng’amagezi ga kitalo ago g’owadde oyo atalina magezi!
Ng’owadde okuluŋŋamizibwa okuyitirivu!
4Ani akuyambye okwogera ebigambo ebyo?
Era mwoyo ki ogwogeredde mu kamwa ko?

5“Abafu kye balimu tekigumiikirizika,
n’abo abali wansi w’amazzi ne bonna abagabeeramu.
6Amagombe gali bwereere mu maaso ga Katonda;
n’okuzikiriza tekulina kikubisse.
7Ayanjuluza eggulu ery’obukiikakkono mu bbanga ejjereere,
awanika ensi awatali kigiwanirira.
8Asiba amazzi mu bire bye;
ate ebire tebyabika olw’okuzitoowererwa.
9Abikka obwenyi bw’omwezi,
agwanjululizaako ebire bye.
10Ateekawo ekipimo ekiraga waggulu amazzi g’ennyanja we gayita,
ng’ensalo eyawula ekitangaala n’ekizikiza.
11Empagi z’eggulu zikankana,
zeewuunya olw’okunenya kwe.
12Afuukuula ennyanja n’obuyinza bwe,
n’asalaasala Lakabu mu bitundutundu n’amagezi ge.
13Yafuuwa omukka ogwatereeza eggulu,
omukono gwe gwafumita omusota oguwulukuka.
14Naye nga bino katundu butundu ku bye yakola.
Nga kye tumuwulirako katundu butundu ku ekyo ky’ali!
Ani ayinza okutegeera okubwatuka kw’obuyinza bwe?”
Copyright information for LugEEEE