Job 27
1Yobu n’ayongera okwogera kwe bw’ati nti, 2“Nga Katonda bw’ali omulamu, agaanye okusala ensonga yange mu mazima,oyo Ayinzabyonna, aleetedde emmeeme yange okulumwa,
3gye nkomye okuba nga nkyalina obulamu mu nze,
omukka gwa Katonda nga gukyali mu nnyindo zange,
4emimwa gyange tegijja kwogera butali butuukirivu,
era olulimi lwange terujja kwogera bulimba.
5Sirikkiriza nti muli batuufu;
okutuusa lwe ndifa, siryeggyako bugolokofu bwange.
6Nzija kwongera okunywerera ku butuukirivu bwange obutabuleka;
omutima gwange tegunsalira musango nga nkyali mulamu.
7“Abalabe bange babeere ng’abakozi b’ebibi,
n’abo abangolokokerako babeere ng’abatali batuukirivu!
8Kubanga ssuubi ki oyo atalina Katonda ly’aba nalyo ng’asaliddwako,
nga Katonda amuggyeko obulamu?
9Katonda awulira okukaaba kwe
ng’ennaku emujjidde?
10Alifuna essanyu mu oyo Ayinzabyonna?
Aliyita Katonda ebbanga lyonna?
11Nzija kubayigiriza ebikwata ku maanyi ga Katonda;
ebikwata ku oyo Ayinzabyonna sijja kubikweka.
12Weekalirize bino byonna bye mwerabiddeko,
lwaki kaakano okwogera ebyo ebitalina makulu?
Empeera y’Abakozi b’Ebibi
13“Eno y’empeera Katonda gy’awa abakozi b’ebibi,omugabo omuntu omujoozi gw’afuna okuva eri oyo Ayinzabyonna:
14Abaana be ne bwe baba bangi batya, enkomerero yaabwe kitala;
ezzadde lye teririfuna byakulya bibamala.
15Abo abaliwona kawumpuli, balifa ne baziikibwa,
ne bannamwandu baabwe tebalibakaabira.
16Wadde ng’atereka effeeza ng’enfuufu,
n’engoye ng’entuumo y’ebbumba,
17ebyo bye yeeterekera omutuukirivu y’alibyambala,
era abo abatalina musango be baligabana effeeza ye.
18Ennyumba gy’azimba eribeera ng’ey’ekiwojjolo;
ng’akasiisira akazimbiddwa omukuumi.
19Agenda okwebaka nga mugagga, naye ekyo tekiddemu kubaawo,
kubanga alizuukuka nga byonna biweddewo.
20Entiisa erimuzingako ng’amataba;
kibuyaga amutwala ekiro mu kyama.
21Embuyaga ey’ebuvanjuba emutwalira ddala n’agenda;
emuggya mu kifo kye n’amaanyi.
22Emukuba awatali kusaasira,
ng’adduka ave mu maanyi gaayo.
23Erimukubira engalo zaayo,
n’emusiiya okuva mu kifo kye.”
Copyright information for
LugEEEE