Job 3
Yobu Akolimira Olunaku kwe Yazaalirwa
1Oluvannyuma lw’ebyo, Yobu n’ayasamya akamwa ke n’akolimira olunaku kwe yazaalirwa. 2N’agamba nti, 3“Olunaku kwe nazaalirwa luzikirire,n’ekiro lwe kyalangirirwa nti omwana mulenzi.
4Olunaku olwo lubuutikirwe ekizikiza,
omusana guleme okulwakako,
Katonda aleme okulufaako.
5Ekizikiza n’ekisiikirize eky’okufa birujjule,
ekire kirutuuleko,
ekizikiza kikankanye ekitangaala kyalwo.
6Ekizikiza ekikutte be zigizigi kirunyage,
luleme okubalirwa awamu n’ennaku eziri mu mwaka,
wadde okuyingizibwa mu ezo eziri mu mwezi.
7Yee, lubeere lugumba,
waleme okuba eddoboozi lyonna ery’essanyu eririwulirwako.
8Abo abakolimira ennyanja n’ennaku balukolimire,
n’abo abamanyi okuzuukusa agasolo galukwata mu nnyanja, balukolimire.
9Emmunyeenye ez’omu matulutulu gaalwo zibe ekizikiza,
lulindirire ekitangaala kirubulwe,
luleme okulaba ebikowe by’oku nkya.
10Kubanga terwaggala nzigi za lubuto lwa mmange,
nneme okulaba obuyinike.
11“Lwaki saafa nga nzalibwa,
oba ne nfa nga nva mu lubuto lwa mmange?
12Lwaki amaviivi ganzikiriza okugatuulako
era n’amabeere okugayonka?
13Kaakano nandibadde ngalamidde nga neesirikidde,
nandibadde neebase nga neewummulidde,
14wamu ne bakabaka n’abakungu ab’ensi,
abezimbira embiri kaakano amatongo,
15oba n’abalangira abaalina zaabu,
abajjuzanga ffeeza mu nnyumba zaabwe.
16Oba lwaki saaziikibwa ng’omwana azaaliddwa ng’afudde,
atalabye ku kitangaala?
17Eyo ababi gye batatawaanyizibwa,
era n’abakooye gye bawummulira.
18Abasibe gye bawummulira awamu,
gye batawulirira kiragiro ky’oyo abaduumira.
19Abakopi n’abakungu gye babeera;
abaddu gye batatuntuzibwa bakama baabwe.
20“Lwaki omuyinike aweebwa ekitangaala,
ne kimulisiza oyo alumwa mu mwoyo,
21era lwaki yeegomba okufa naye ne kutajja,
n’akunoonya okusinga obugagga obuziikiddwa,
22abajaguza ekisukkiridde,
ne basanyuka ng’atuuse ku ntaana?
23Lwaki okuwa ekitangaala oyo,
atayinza kulaba kkubo,
Katonda gw’akomedde?
24Kubanga nkaaba mu kifo ky’okulya,
n’okusinda kwange kufukumuka ng’amazzi.
25Ekintu kye nantiiranga ddala
era kye nakyawa kye kyantukako.
26Siwummudde wadde okusiriikirira wadde okuba n’emirembe,
wabula buzibu bwereere bwe bunzijidde.”
Copyright information for
LugEEEE