‏ Job 30

1“Naye kaakano bansekerera;
abantu abansinga obuto,
bakitaabwe be nnandibadde nteeka
wamu n’embwa ezikuuma endiga zange.
2Amaanyi g’emikono gyabwe gaali gangasa ki?
Abantu abaali baweddemu amaanyi ag’obuvubuka bwabwe,
3abakoozimbye abaali mu bwetaavu era abayala,
bameketa ettaka ekkalu mu nsi enjereere mu budde obw’ekiro.
4Banoga ebiragala ebiwoomerera ng’omunnyo mu bisaka,
enkolokolo ez’omwoloola y’emmere yaabwe.
5Baagobebwa bave mu bantu bannaabwe,
ne babaleekaanira gy’obeera nti, baali babbi.
6Baawalirizibwa okubeera mu migga egyakalira,
mu njazi ne mu binnya wansi mu ttaka.
7Baakaabira mu bisaka ng’ensolo
ne beekweka mu bikoola by’emiti.
8Ezzadde ly’abasirusiru abatalina bwe bayitibwa,
baagobebwa mu nsi.
9Naye kaakano abaana baabwe bansekerera nga bannyimba;
nfuuse ekyenyinyalwa gye bali,
10abatanjagala abanneesalako,
banguwa okunfujjira amalusu mu maaso.
11Kaakano Katonda nga bw’atagguludde akasaale kange, ammazeemu amaanyi;
beeyisizza nga bwe balaba mu maaso gange.
12Abantu bano bannumba ku mukono gwange ogwa ddyo;
bategera ebigere byange emitego,
ne baziba amakubo banzikirize.
13Banzingiza
ne banzikiriza,
nga tewali n’omu abayambye.
14Banzingiza ng’abayita mu kituli ekigazi,
bayingira nga bayita mu muwaatwa.
15Nnumbiddwa ebitiisa eby’amaanyi;
ekitiibwa kyange kifuumuuse ng’ekifuuyiddwa empewo,
era n’obukuumi bwange ne bubulawo ng’ekire.”

Okubonaabona kwa Yobu

16“Era kaakano obulamu bwange buseebengerera buggwaawo,
ennaku ez’okubonaabona zinzijjidde.
17Ekiro kifumita amagumba gange
era obulumi bwe nnina tebukoma.
18Mu maanyi ge amangi Katonda abeera ng’olugoye lwe nneebikka,
n’ensibibwa ng’ekitogi ky’ekyambalo kyange.
19Ansuula mu bitosi,
ne nfuuka ng’enfuufu n’evvu.

20“Nkukaabirira nti, Ayi Katonda, naye toddamu;
nnyimirira, naye ontunuulira butunuulizi.
21Onkyukira n’obusungu;
onnumba n’omukono gwo ogw’amaanyi.
22Onsitula mu bbanga n’ongobesa empewo,
n’onziza eno n’eri mu muyaga.
23Mmanyi nga olintuusa mu kufa,
mu kifo kye wateekerawo abalamu bonna.

24“Ddala tewali ayamba muntu anyigirizibwa
ng’akaaba mu kunyigirizibwa kwe.
25Saakaabira abo abaali mu buzibu?
Emmeeme yange teyalumirirwa abaavu?
26Naye bwe nanoonya obulungi, ekibi kye kyajja;
bwe nanoonya ekitangaala, ekizikiza kye kyajja.
27Olubuto lwange lutokota, terusirika;
ennaku ez’okubonaabona kwange zinjolekedde.
28Nzenna ŋŋenda nzirugala naye si lwa kwokebwa musana;
nnyimirira mu lukuŋŋaana, ne nsaba obuyambi.
29Nfuuse muganda w’ebibe,
munne w’ebiwuugulu.
30Olususu lwange luddugadde, era lususumbuka;
n’omubiri gwange gwokerera.
31Ettendo lyange lifuuseemu kukaaba
n’akalere kange ne kavaamu eddoboozi ery’ebiwoobe.”
Copyright information for LugEEEE