Job 31
Obutukuvu bwa Yobu
1“Nakola endagaano n’amaaso gange;obutatunuulira muwala n’amaaso ag’obukaba.
2Kiki Katonda kye yandinsasudde okuva waggulu,
omugabo ogwandivudde eri oyo Ayinzabyonna ali waggulu?
3Emitawaana tegijjira abo abatali batukuvu,
n’okulaba ennaku ne kujjira abakola eby’obujeemu?
4Amakubo gange gonna tagalaba,
era tamanyi ntambula yange?
5Obanga natambulira mu bulimba
era nga n’ekigere kyange kyayanguyiriza okukola obukuusa;
6leka mpimibwe ku minzaani ya Katonda
amanye obutuukirivu bwange.
7Obanga ekigere kyange kyali kikyamye okuva mu kkubo,
n’omutima gwange ne gugoberera amaaso gange,
engalo zange ne zibaako ebbala lyonna;
8kale nsige, omulala abirye,
weewaawo ebirime byange bikuulibwe.
9Obanga omutima gwange gwali gusendeddwasendeddwa omukazi,
oba ne mmuteegera ku mulyango gwa muliraanwa,
10kale omukazi wange ase eŋŋaano y’omusajja omulala,
n’abasajja abalala beebake naye.
11Kubanga ekyo kyandibadde kya kivve,
ekibi ekiŋŋwanira okubonerezebwa.
12Ogwo gwandibadde muliro ogwokya okutuusa mu kuzikirira,
ogwandyokezza ebyange byonna bye nasimba.”
Abaddu n’Abaavu Okubassaako Omwoyo
13“Obanga nnali nnyoomye ensonga y’omuddu wange oba omuddu wange omukazi,bwe banninaako ensonga,
14kale ndikola ntya Katonda bw’alinnyimukiramu?
Era bw’alimbuuza, ndimuddamu ki?
15Eyantonda mu lubuto nabo si ye yabatonda?
Ffenna si ye yatukola mu mbuto za bannyaffe?
16“Obanga nnamma omwavu ekintu kyonna,
era obanga nakaabya nnamwandu;
17obanga nnali ndidde akamere kange nzekka
atalina kitaawe n’atalyako,
18kubanga okuva mu buto bwange namulera nga kitaawe,
era okuva mu lubuto lwa mmange nayamba nnamwandu.
19Obanga nnali ndabye omuntu yenna ng’afa olw’okubulwa ebyambalo,
oba ali mu kwetaaga atalina kye yeebikka;
20mpozzi omutima gwe, gwe gutansiima,
olw’okumubugumya n’ebyoya by’endiga zange;
21obanga nayimusa omukono gwange eri abatalina bakitaabwe,
kubanga mmanyi nti, mmanyiganye n’ab’obuyinza,
22kale omukono gwange gukutuke ku kibegabega kyange,
leka gukutukireyo mu kinywa we guyungira.
23Olw’okutya okuzikirizibwa Katonda n’olw’obukulu bwe,
nnali sisobola kukola bintu ng’ebyo.
24“Obanga nateeka obweyamo bwange mu zaabu
oba ne ŋŋamba zaabu ennongoose nti, ‘Ggwe bwesige bwange;’
25obanga neeyagala olw’okuba n’obugagga obungi,
oba olw’okuba emikono gyange gy’ali ginfunyisizza bingi;
26obanga nnali ntunuulidde enjuba,
oba omwezi nga byaka mu kitiibwa,
27omutima gwange ne gusendebwasendebwa mu kyama,
ne mbinywegera nga mbisaamu ekitiibwa,
28era n’ekyo kyandibadde kibi ekiŋŋwanyiza okusalirwa omusango
olw’obutaba mwesigwa eri Katonda ali waggulu.”
Abalabe n’Abagwira Okubassaako Omwoyo
29“Obanga nasanyuka ng’omulabe wange afunye emitawaanaoba ne njaguza olw’ebizibu ebyamutuukako,
30sakkiriza kamwa kange kwonoona
nga nkolimira obulamu bwe.
31Abantu b’omu nnyumba yange bwe baba tebabuuzanga nti,
‘Ani atakkuse nnyama?’
32Tewali mutambuze yasula ku kkubo,
kubanga oluggi lwange lwali luggule eri buli muyise.
33Obanga nakweka ekibi kyange ng’abantu bwe bakola,
nga nkweka obutali butuukirivu bwange mu mutima gwange,
34olw’okutya ekibiina,
nga ntya okuswala mu kika,
ne nsirika ne ntya n’okufuluma ebweru,
35so nga waliwo ayinza okumpulira,
leka nteekeko omukono ku mpoza yange, leka Ayinzabyonna anziremu;
n’oyo ampawaabira abiteeke mu buwandiike.
36“Ddala ddala nandibyambadde ku kibegabega kyange,
nandibyambadde ku mutwe ng’engule.
37Nandimunnyonnyodde buli kifo we nalinnya ekigere,
nandimusemberedde ng’omulangira.
38“Singa ettaka lyange linkaabirira,
n’ebinnya byalyo bye nsimye ne bitotobala n’amaziga;
39obanga ndiddemu ebibala awatali kusasula,
era ne ndeetera bannannyini lyo okufa,
40leka omwennyango gumere mu kifo ky’eŋŋaano,
n’omuddo oguwunya gumere mu kifo kya sayiri.”
Ebigambo bya Yobu byakoma wano.
Copyright information for
LugEEEE