‏ Job 33

1“Kaakano ggwe Yobu, wuliriza ebigambo byange:
ssaayo omwoyo ku byonna bye njogera.
2Laba nnaatera okwasamya akamwa kange,
ebigambo byange bindi ku lulimi.
3Ebigambo byange biva mu mutima omulongoofu;
olulimi lwange, mu bwesimbu, lwogera bye mmanyi.
4Omwoyo wa Katonda ye yankola,
era omukka gw’oyo Ayinzabyonna gumpa obulamu.
5Onnyanukule nno bw’oba osobola,
teekateeka ebigambo byo onjolekere.
6Laba, nange ndi ggwe mu maaso ga Katonda.
Nange nava mu bbumba.
7Tobaako ky’otya,
sijja kukunyigiriza.
8Ddala ddala oyogedde mpulira,
ebigambo byennyini mbiwulidde ng’ogamba nti,
9Ndi mulongoofu sirina kibi,
siriiko musango so mu nze temuli butali butuukirivu.
10Kyokka Katonda anteekako omusango,
anfudde omulabe we.
11Asiba ebigere byange mu nvuba,
antwala okuba omulabe we.

12“Naye leka nkubuulire, mu kino toli mutuufu.
Katonda asinga omuntu.
13Lwaki omwemulugunyiza nti,
taddamu bigambo bya muntu yenna?
14Kubanga Katonda ayogerera mu ngeri emu, n’awalala n’ayogerera mu ngeri endala,
wadde ng’omuntu tassaayo mwoyo.
15Mu kirooto mu kwolesebwa ekiro
ng’otulo tungi tukutte abantu
nga beebase ku bitanda byabwe,
16aggula amatu g’abantu,
n’abalabula n’ebyekango,
17alyoke akyuse omuntu okumuggya mu bikolwa ebibi
n’amalala,
18aziyize emmeeme ye okukka mu bunnya,
n’obulamu bwe buleme okuzikirira n’ekitala.

19“Omuntu ayinza okubonerezebwa, olumbe ne lumulumira ku kitanda kye,
n’alumwa olutatadde mu magumba ge,
20obulamu bwe ne bwetamira ddala emmere,
emmeeme ye n’ekyayira ddala ebyassava.
21Omubiri gwe gugwako ku magumba,
n’amagumba ge ne gafubutukayo gye gaali geekwese,
22emmeeme ye n’esembera kumpi n’obunnya;
obulamu bwe ne bulaga eri abo abaleeta okufa.
23Singa wabaawo malayika ku ludda lwe,
amuwolereza, omu ku lukumi,
okubuulira omuntu ekigwanidde;
24yandimukwatiddwa ekisa n’amugamba nti,
‘Muwonye aleme kusuulibwa magombe,
mmusasulidde omutango,’
25omubiri gwe guzzibwa buggya ng’ogw’omwana omuwere,
era guddayo ne gubeera nga bwe gwali mu nnaku ze ez’obuvubuka.
26Omuntu asaba Katonda, Katonda n’amukwatirwa ekisa.
Alaba amaaso ga Katonda n’ajaguza n’essanyu,
Katonda n’amuddiza nate ekifo kye eky’obutuukirivu.
27Awo omuntu n’akomawo eri abantu n’abagamba nti,
Nayonoona, ne nkola ekyo ekitaali kirungi,
naye ne sibonerezebwa nga bwe kyali kiŋŋwanidde.
28Yanunula emmeeme yange n’amponya okukka mu bunnya;
kyenaava mbeera omulamu ne nsigala nga mpoomerwa ekitangaala.

29“Bw’atyo Katonda bw’akola omuntu
emirundi ebiri oba esatu,
30okuzza emmeeme ye ng’agiggya emagombe,
ekitangaala eky’obulamu kimwakire.

31“Yobu, weetegereze nnyo, ompulirize;
siriikirira nkubuulire.
32Bw’oba ng’olina eky’okwogera kyonna, nziraamu;
yogera kubanga njagala wejjeerere.
33Bwe kitaba kityo, mpuliriza;
sirika nange nnaakuyigiriza amagezi.”
Copyright information for LugEEEE