‏ Job 34

1Awo Eriku ne yeeyongera okwogera nti, 2“Muwulire ebigambo byange, mmwe abasajja ab’amagezi;
mumpulirize mmwe abayivu.
3Kubanga okutu kugezesa ebigambo
ng’olulimi bwe lugezesa emmere.
4Leka twesalirewo ekituufu;
muleke tulondewo ekisaanidde.

5“Yobu agamba nti, ‘Siriiko musango,
naye Katonda agaanye okusala omusango gwange mu mazima.
6Wadde nga ndi mutuufu,
ntwalibwa okuba omulimba,
wadde nga siriiko musango,
akasaale ke kanteseeko ekiwundu ekitawonyezeka.’
7Musajja ki ali nga Yobu,
anywa okunyoomebwa ng’anywa amazzi?
8Atambula n’abakozi b’ebibi,
mukwano gw’abo abakola ebitali bya butuukirivu.
9Kubanga agambye nti, ‘Omuntu talina kyaganyulwa
bw’agezaako okusanyusa Katonda.’
10Noolwekyo mumpulirize mmwe abasajja abalina okutegeera.
Kikafuuwe Katonda okukola ebibi,
wadde Ayinzabyonna okukola ebikyamu.
11Asasula omuntu olw’ekyo ky’aba akoze;
n’amutuusaako ebyo ebimusaanidde olw’empisa ze.
12Weewaawo amazima gali nti, Katonda tasobya.
Ayinzabyonna tasaliriza musango.
13Obuyinza yabuggya eri ani okukulembera ensi?
Ani eyamuwa olukusa okufuga ensi yonna?
14Singa asalawo n’atwala omwoyo gw’omuntu
awamu n’omukka gwe,
15abantu bonna bandizikiriridde wamu,
era omuntu yandizzeeyo mu nfuufu.

16“Bw’oba olina okutegeera, wuliriza kino;
wuliriza kye ŋŋamba.
17Oyo atayagala bwenkanya asobola okufuga?
Onoosalira abatuukirivu n’oyo ow’amaanyi omusango?
18Oyo si ye agamba bakabaka nti, ‘Tolina mugaso,’
n’abakungu nti, ‘Oli mukozi wa bibi,’
19atattira balangira ku liiso
era nga tafa ku bagagga kusinga bw’afa ku baavu,
kubanga egyo gye mirimu gy’emikono gye?
20Mu kaseera buseera baba bafiiridde wakati mu ttumbi.
Abantu banyeenyezebwa ne baggyibwawo.
Abo ab’amaanyi batwalibwa n’omukono ogutali gw’abantu.

21“Amaaso ge gatunuulira amakubo g’abantu;
atunuulira buli kigere kye batambula.
22Teri kifo kikwafu wadde ekisiikirize eky’amaanyi,
ababi gye bayinza okwekweka.
23Katonda teyeetaaga kwongera kwekebejja bantu
okulabika mu maaso ge okusalirwa omusango.
24Awatali kwebuuza ku muntu yenna, amenyaamenya ab’amaanyi
n’ateekawo abalala mu kifo kyabwe.
25Olw’okubanga amanyi ebikolwa byabwe,
abamalamu amaanyi ekiro ne babetentebwa.
26Ababonereza olw’ebikolwa byabwe ebibi
abantu bonna nga balaba,
27kubanga baamuvaako ne balekeraawo okumugoberera
ne bataddayo kufaayo n’akatono ku makubo ge gonna.
28Baleetera abaavu okukaaba, ne kumutuukako
era n’awulira okukaaba kw’abanyigirizibwa.
29Naye bw’asalawo obutabaako ky’ayogera, ani ayinza okumunenya?
Bwakweka amaaso ge ani ayinza okumulaba?
Eggwanga n’omuntu abalinako obuyinza bwe bumu;
30aziyiza omuntu atatya Katonda okufuga,
aleme okutega abantu emitego.

31“Singa omuntu agamba Katonda nti,
gunsinze, sikyaddayo kwonoona,
32kye sitegeera kinjigirize,
bwe mba nga nsobezza sikyaddayo kukikola,
33olwo Katonda akuddemu nga bw’oyagala,
akuleke ng’ogaanye okwenenya?
Kaakano ggwe olina okusalawo, so sinze;
noolwekyo mbuulira ggwe ky’omanyi.

34“Abantu abalina okutegeera mumbuulire,
abasajja abagezi abawulira muntegeeze,
35‘Yobu ayogeza butamanya
ebigambo bye tebiriimu kwolesebwa.’
36Singa Yobu agezesebbwa okutuusa ku nkomerero,
olw’okwogera ng’abasajja abakozi b’ebibi!
37Kubanga ku kibi kye ayongeddeko obujeemu,
n’akuba mu ngalo wakati mu ffe,
n’ayongera okwogera ng’awakanya Katonda.”
Copyright information for LugEEEE