Job 36
1Eriku ne yeeyongera okwogera nti, 2“Yongera okuŋŋumiikirizaako katono nkulage,nkyalina bye nnina okwogera ebifa ku Katonda.
3Amagezi ge nnina gava wala,
era mmanyi nga Omutonzi wange alamula mu bwenkanya.
4Eky’amazima ebigambo byange si bikyamu,
oyo akakasa by’amanyi y’ayogera naawe.
5“Laba, Katonda wa buyinza, tanyooma bantu;
w’amaanyi, anywerera ku bigendererwa bye.
6Talamya bakozi ba bibi,
era awa ababonyaabonyezebwa ebibasaanira.
7Taggya maaso ge ku batuukirivu,
abatuuza ku ntebe ey’obwakabaka
n’abagulumiza emirembe n’emirembe.
8Naye abantu bwe baba basibiddwa enjegere
nga banywezeddwa n’emiguwa egy’okulumwa
9n’abategeeza ensobi zaabwe, n’okwonoona kwabwe,
nti, beewaggudde,
10aggula amatu gaabwe bawulirize okunenyezebwa
n’abalagira beenenye ekibi kyabwe.
11Bwe bamugondera ne bamuweereza,
ennaku zaabwe zonna balizimala mu kwesiima,
era n’emyaka gyabwe mu kusanyuka.
12Naye bwe batamugondera,
baalizikirizibwa n’ekitala,
bafe nga tebalina magezi.
13“Ab’emitima egitatya Katonda baba n’obukyayi.
Ne bw’abasiba, tebamukaabirira abasumulule.
14Bafiira mu buvubuka bwabwe
era obulamu bwabwe buzikiririra mu basajja abenzi.
15Anunula anyigirizibwa mu kubonaabona kwe,
n’aggula okutu kwe mu kujoogebwa kwe.
16“Akusendasenda okukuggya mu kamwa k’okubonaabona,
akuteeke mu kifo ekigazi ekitaliimu kuziyizibwa,
omanye emirembe gy’emeeza yo ejjudde emmere ennungi.
17Naye kaakano weetisse omugugu ogw’okusalirwa omusango abakozi b’ebibi gwe basaanira;
okusalirwa omusango n’obwenkanya byakunyweza.
18Weegendereze oleme kukkiriza kusendebwasendebwa;
obunene bw’enguzi buleme okukukyamya.
19Obugagga bwo
oba okufuba kwo kwonna
binaakuyamba okukuggya mu buyinike?
20Teweegomba budde bwa kiro
olyoke owalule abantu okuva mu bifo byabwe.
21Weegendereze oleme kukola bitali bya butuukirivu,
by’osinga okwagala okukira okubonyaabonyezebwa.
22“Laba Katonda yagulumira mu maanyi ge;
ani ayigiriza nga ye?
23Ani eyali amukubidde amakubo,
oba okumugamba nti, ‘Ky’okoze si kituufu?’
24Jjukira ng’oteekwa okugulumizanga emirimu gye,
abantu gye bayimba mu nnyimba.
25Abantu bonna baagiraba,
omuntu agirengerera wala.
26Laba, Katonda agulumizibwe! Assukiridde okutegeera kwaffe;
obungi bw’emyaka gye tebunoonyezeka.
27“Kubanga akuŋŋaanya amatondo g’amazzi,
agafuuka enkuba etonnya mu bugga;
28ebire bivaamu amazzi gaabyo,
enkuba n’ekuba abantu.
29Ani ayinza okutegeera engeri gy’asaasaanyamu ebire,
okubwatuka okuva ku kituuti kye?
30Laba, asaasaanya okumyansa kw’eggulu,
era n’abikka obuziba bw’ennyanja.
31Eyo y’engeri gy’afugamu amawanga,
n’agawa emmere mu bungi.
32Emikono gye agijjuza eraddu,
n’agiragira ekube ebifo bye yeerondeddemu.
33Okubwatuka kwayo kulangirira kibuyaga ajja,
n’ente ne zirangirira okujja kwayo.”
Copyright information for
LugEEEE