Job 4
Erifaazi Ayogera
1Awo Erifaazi Omutemani n’ayanukula ng’agamba nti, 2“Omuntu bw’anaayogera naawe onoonyiiga?Naye ani ayinza okusirika obusirisi?
3Laba, wayigiriza bangi,
emikono eminafu wagizzaamu amaanyi.
4Ebigambo byo byanyweza abaali bagwa,
era ng’ozzaamu amaanyi amaviivi agaali gakankana.
5Naye kaakano kikutuuseeko, oweddemu amaanyi;
kikutte ku ggwe n’oggwaawo!
6Okutya Katonda wo si bwe bwesige bwo,
n’obwesimbu bwo si ly’essuubi lyo?
7“Kaakano lowooza; ani ataliiko musango eyali azikiridde?
Oba wa abatuukirivu gye baali bamaliddwawo?
8Okusinziira ku kyendabye; abo abateekateeka okukola ebibi era ne basiga ebitali bya butuukirivu,
bakungula bizibu.
9Bazikirizibwa omukka Katonda gw’assa,
bamalibwawo obusungu bwe.
10Okuwuluguma kw’empologoma, n’eddoboozi ly’empologoma enkambwe,
n’amannyo g’empologoma ento gamenyeka.
11Empologoma ey’amaanyi ezikirira olw’okubulwa omuyiggo,
n’obwana bw’empologoma busaasaana.
12“Nategeezebwa ekigambo eky’ekyama,
ne nkitegera okutu.
13Wakati mu birowoozo n’okwolesebwa kw’ekiro
ng’otulo otungi tukutte omuntu,
14okutya n’okukankana byankwata ne bireetera amagumba gange okunyegenya.
15Omwoyo gw’ayita mu maaso gange,
obwoya bw’oku mubiri gwange ne buyimirira.
16Ne buyimirira butengerera,
naye saasobola kwetegereza ndabika yaabwo,
n’ekifaananyi kyali mu maaso gange, ne wabaawo akasiriikiriro,
ne ndyoka mpulira eddoboozi nga ligamba nti,
17‘Omuntu afa ayinza okuba omutuukirivu okusinga Katonda?
Omuntu ayinza okuba omulongoofu okusinga Omutonzi we?
18Obanga abaddu be tabeesiga,
nga bamalayika be abalanga ensobi
19kale kiriba kitya,
abo abasula mu z’ebbumba ezirina emisingi egiri mu nfuufu,
ababetentebwa n’okusinga ekiwojjolo?
20Bamalibwawo wakati w’amakya n’akawungeezi,
bazikirira emirembe n’emirembe awatali abafaako.
21Omuguwa gwa weema yaabwe gusimbulwa munda,
ne bafa ng’abasirusiru.’ ”
Copyright information for
LugEEEE