‏ Job 6

Yobu Ayanukula

1Yobu n’ayanukula ng’agamba nti, 2“Singa okweraliikirira kwange,
n’okubonaabona kwange bipimibwa ne biteekebwa ku minzaani!
3Weewaawo byandisinze omusenyu gw’ennyanja okuzitowa;
ebigambo byange kyenvudde mbyanguyiriza.
4Obusaale bwa Ayinzabyonna buli mu nze
n’omwoyo gwange gunywedde obusagwa bwabwo:
entiisa ya Katonda erwana nange.
5Entulege ekaaba awali omuddo,
oba ente ennume eŋŋooŋŋa awali emmere yaayo?
6Emmere etaliimu nsa eriika omutali munnyo,
oba amazzi g’eggi okubaamu akawoomerera?
7Omutima gwange tegusikirizibwa kubikombako,
biri ng’emmere etangasa.

8“Singa Katonda ampa kye nsaba,
n’ampa kye nsuubira,
9yandisiimye okumbetenta
ne mmalibwawo omukono gwe.
10Kino kyandikkakkanyizza
obulumi obutakoma
kubanga sigaanye bigambo bya Mutukuvu.
11Amaanyi ngaggya wa, ndyoke mbe n’essuubi?
Era enkomerero yange, eruwa ndyoke ngumiikirize?
12Amaanyi gange ga mayinja
oba omubiri gwange gwa kikomo?
13Mu mazima sirina maanyi
n’obusobozi bwanzigwako.
14Oyo agaana ebyekisa okuva eri mukwano gwe
tafaayo kutya Ayinzabyonna.
15Baganda bange tebeesigika, bali ng’akagga akabooga
ate ne kakalira,
16akaddugalirira
buli lwe kakwata, ng’omuzira,
17ate ne kaggwaawo
buli lwe wabaawo ebbugumu.
18Ebibinja by’abatambuze we biviira ku mugendo
ne biraga mu ddungu ne bizikirira.
19Abatambuze b’e Teema banoonya,
bo ab’e Seeba ne balindirira n’essuubi.
20Baalina essuubi
naye bwe baatuukayo ne banyolwa nnyo.
21Kaakano bwe mundabye ne mutya
ne mukakasizza ddala nga temuliiko kye muyinza kukola.
22Nnali mbagambye nti, ‘Mumpe ekirabo,’
oba nti, ‘Mumpeereyo ekintu ku by’obugagga bwammwe,
23okumponya nve mu mukono gw’omulabe,
n’okumpeerayo ekintu mpone emitego gy’abakambwe’? 

24“Njigiriza nange n’aba musirise;
ndaga we nsobezza.
25Ebigambo eby’amazima nga bya bulumi!
Naye okuwakana kwammwe kukakasa ki?
26Mugezaako okugolola ebigambo byange,
ne mufuula ebigambo by’omuntu ali obubi okuba ng’empewo?
27Mukubira ne bamulekwa akalulu
ate ne mukubira ne mukwano gwammwe.

28“Naye kaakano mubeere ba kisa muntunuulire.
Ndabika ng’omulimba?
29Mufumiitirize, temusuula bwenkanya;
Mukirowoozeeko, kubanga obujulirwa bwange buli ku kalebwerebwe.
30Emimwa gyange girabika ng’egirimba?
Emimwa gyange tegisobola kutegeera ttima?”
Copyright information for LugEEEE