Job 7
1“Ebiseera by’omuntu ku nsi, tebyagerebwa?Ennaku ze tezaagerebwa nga ez’omupakasi?
2Ng’omuddu eyeegomba ekisiikirize okujja,
ng’omupakasi bwe yeesunga empeera ye;
3bwe ntyo bwe nnaweebwa emyezi egy’okubonaabona,
ebiro ebyokutegana bwe byangererwa.
4Bwe ngalamira neebake, njogera nti, ‘Ndiyimuka ddi, ekiro kinaakoma ddi?’
Nga nzijudde okukulungutana okutuusa obudde lwe bukya.
5Omubiri gwange gujjudde envunyu n’ebikakampa,
n’olususu lwange lukutusekutuse era lulabika bubi.
6“Ennaku zange zidduka okusinga ekyuma ky’omulusi w’engoye bw’atambuza ky’alusisa engoye ze;
era zikoma awatali ssuubi.
7Ojjukira Ayi Katonda, nti obulamu bwange tebuliimu, wabula mukka bukka,
amaaso gange tegaliddayo kulaba bulungi.
8Eriiso ly’oyo eryali lindabyeko teririddayo kundaba;
amaaso gammwe galinnoonya, naye nga sikyaliwo.
9Nga ekire bwe kibulawo ne kigenda,
bw’atyo n’aziikwa mu ntaana talivaayo.
10Taliddayo mu nnyumba ye,
amaka ge tegaliddayo kumumanya nate.
11Noolwekyo sijja kuziyiza kamwa kange, nzija kwogera okulumwa kw’omutima gwange;
nzija kwemulugunyiza mu bulumi bw’emmeeme yange.
12Ndi nnyanja oba ndi lukwata ow’omu buziba,
olyoke onkuume?
13Bwe ndowooza nti, obuliri bwange bunampa ku mirembe,
ekiriri kyange kinakendeeza ku kulumwa kwange;
14n’olyoka ontiisa n’ebirooto
era n’onkanga okuyita mu kwolesebwa.
15Emmeeme yange ne yeegomba okwetuga,
nfe okusinga okuba omulamu.
16Sikyeyagala, neetamiddwa. Sijja kubeera mulamu emirembe gyonna.
Ndeka; kubanga ennaku zange butaliimu.
17Omuntu kye ki ggwe okumugulumiza,
n’omulowoozaako?
18Bw’otyo n’omwekebejja buli makya,
n’omugezesa buli kaseera?
19Olituusa ddi nga tonvuddeeko
n’ondeka ne mmira ku malusu?
20Nyonoonye;
kiki kye nakukola, ggwe omukuumi w’abantu?
Lwaki onfudde nga akabonero ak’obulabe gy’oli,
ne neefuukira omugugu?
21Era lwaki tosonyiwa kwonoona kwange,
n’oggyawo obutali butuukirivu bwange?
Kubanga kaakano nzija kwebaka mu ntaana;
era ojja kunnoonya ku makya naye naaba sikyaliwo.”
Copyright information for
LugEEEE