Job 8
Birudaadi Ayogera
1Awo Birudaadi Omusukusi n’addamu n’agamba nti, 2“Onookoma ddi okwogera ebintu bino?Era ebigambo bino by’oyogera n’akamwa ko binaakoma ddi okuba ng’empewo ey’amaanyi?
3Katonda akyusakyusa mu nsala ye?
Oba oyo Ayinzabyonna akyusakyusa amazima?
4Abaana bo bwe baayonoona eri Mukama,
n’abawaayo eri empeera y’ekibi kyabwe.
5Kyokka bw’onoonoonya Katonda,
ne weegayirira oyo Ayinzabyonna,
6bw’onooba omulongoofu era ow’amazima,
ddala ddala anaakuddiramu
n’akuzzaayo mu kifo kyo ekituufu.
7Wadde ng’entandikwa yo yali ntono,
embeera yo ey’enkomerero ejja kuba nnungi ddala.
8Buuza ku mirembe egy’edda,
era onoonyereze ku bakitaabwe bye baayiga;
9kubanga ffe twazaalibwa jjuuzi era tetulina kye tumanyi,
era ne nnaku ze twakamala ku nsi ziri ng’ekisiikirize.
10Tebaakulage bakumanyise era bakutegeeze ebigambo bye mitima gyabwe
oba by’okutegeera kwabwe?
11Ebitoogo biyinza okumera
awatali bitosi?
12Biba bikyakula nga tebinnasalibwa,
bikala mangu okusinga omuddo.
13Bw’etyo enkomerero bw’ebeera ey’abo bonna abeerabira Katonda,
essuubi ly’abatatya Katonda bwe libula.
14Ebyo bye yeesiga byatika mangu,
ebyo bye yeesiga, nnyumba ya nnabbubi!
15Yeesigama wuzi za nnabbubi ne zikutuka
azeekwatako nnyo naye ne zitanywera.
16Ali ng’ekimera ekifukirire obulungi ekiri mu musana,
nga kyanjadde amatabi gaakyo mu nnimiro;
17emirandira gyakyo nga gyezingiridde, okwetooloola entuumu y’amayinja,
nga ginoonya ekifo mu mayinja.
18Naye bwe bakiggya mu kifo kyakyo,
ekifo ekyo kikyegaana ne kigamba nti, Sikulabangako.
19Mazima ddala essanyu lyakyo liggwaawo,
ebirime ebirala ne bikula okuva mu ttaka.
20Mazima ddala Katonda talekerera muntu ataliiko musango,
era tanyweza mukono gw’abakola ebibi.
21Ajja kuddamu ajjuze akamwa ko enseko,
n’emimwa gyo amaloboozi ag’essanyu.
22Abalabe bo balijjula obuswavu,
era n’ennyumba z’abakozi b’ebibi zirimalibwawo.”
Copyright information for
LugEEEE