‏ Job 9

Yobu Ayanukula

1Yobu n’alyoka addamu nti, 2“Ddala nkimanyi nga kino kituufu.
Naye omuntu asobola atya okuba omutuukirivu eri Katonda?
3Wadde ng’omuntu yandyagadde okuwakana naye,
tayinza kumuddamu kibuuzo na kimu ku bibuuzo olukumi.
4Amagezi ge ga nsusso, amaanyi ge mangi nnyo;
ani eyali amuwakanyizza n’avaayo nga taliiko binuubule?
5Asimbula ensozi ne zivaayo nga tezimanyiridde
era n’azivuunika ng’asunguwadde.
6Ensi aginyeenya n’eva mu kifo kyayo
era n’akankanya empagi zaayo.
7Ayogera eri enjuba ne teyaka,
akugira n’alemesa ekitangaala ky’emmunyeenye okulabika.
8Ye yekka abamba eggulu
era n’atambulira ku mayengo g’ennyanja.
9Ye mukozi wa Nabaliyo, entungalugoye ne Kakaaga,
n’ebibinja eby’emunyeenye eby’obukiikaddyo.
10Akola ebyewuunyo ebizibu okunnyonnyola,
n’akola n’ebyamagero ebitabalika.
11Bw’ayita we ndi sisobola kumulaba,
bw’ampitako, sisobola kumutegeera.
12Bw’aba alina ky’aggya ku muntu, ani ayinza okumuziyiza?
Ani ayinza okumubuuza nti kiki ky’okola?
13Katonda taziyiza busungu bwe;
n’ebibinja bya Lakabu byakankanira wansi w’ebigere bye.
14Kaakano nnyinza ntya okuwakana naye?
Nnyinza ntya okufuna ebigambo mpakane naye?
15Wadde nga siriiko musango, sisobola kubaako kye muddamu,
mba nnyinza kwegayirira bwegayirizi oyo Omulamuzi wange ankwatirwe ekisa.
16Ne bwe na ndimukoowodde n’ampitaba,
sirowooza nti yandimpadde ekiseera n’ampuliriza.
17Yandimenyeemenye mu muyaga
nannyongerako ebiwundu awatali nsonga.
18Teyandindese kuddamu mukka
naye yandimmaliddewo ddala nga mbonaabona.
19Bwe kiba nga kigambo kya maanyi bwanyi, ye wa maanyi.
Era bwe kiba kya kusala musango, ani alimuyita?
20Ne bwe sandibaddeko musango, akamwa kange kandigunsalidde.
Ne bwe bandinnangiridde nti siriiko kyakunenyezebwa, kandirangiridde nti gunsinze.

21“Wadde nga sirina kyakunenyezebwa,
sikyefaako,
obulamu bwange mbunyooma.
22Byonna kye kimu, kyenva ŋŋamba nti,
Azikiriza bonna abataliiko musango awamu n’abakozi b’ebibi.
23Kawumpuli bw’aba asse mbagirawo,
Mukama asekerera okubonaabona kw’abatalina musango.
24Ensi yaweebwayo mu mukono gw’abakozi b’ebibi.
Abikka ku maaso g’abagiramula.
Bw’aba nga si Mukama, kale ani?
25Kaakano ennaku zange zidduka okusinga omuddusi,
zifuumuuka, tezirina kalungi ke ziraba.
26Zifuumuuka ng’amaato ag’ebitoogo
Amaato ag’ebitoogo gaakolebwanga mu Misiri
agadduka ennyo,
ng’empungu eyanguyiriza okugenda eri omuyiggo.
27Bwe ŋŋamba nti, Leka neerabire okusinda kwange,
oba nti neerabire obunyiikaavu bwange, nsekemu,
28ne neekokkola okubonaabona kwange,
mmanyi nga Mukama tombale ng’ataliiko musango.
29Omusango gunsinze,
lwaki nteganira obwereere?
30Ne bwe nandinaabye sabbuuni
n’engalo zange ne nzitukuza,
31era wandinsudde mu kinnya,
n’engoye zange zennyini ne zinneetamwa.
32Kubanga Mukama si muntu nga nze bwe ndi nti muddemu,
era nti tusisinkane tuwozaŋŋanye mu mbuga z’amateeka.
33Tewali mutabaganya
ayinza kututeekako mukono gwe ffembi,
34eyandizigyeko omuggo gwa Katonda
entiisa ye n’erekeraawo okunzijira.
35Olwo nno nandyogedde nga simutya;
naye nga bwe kiri kaakano, sisobola.”
Copyright information for LugEEEE