‏ Lamentations 4

1Zaabu ng’ettalazze!
Zaabu ennungi ng’efuuse!
Amayinja ag’omuwendo gasaasaanye
buli luguudo we lutandikira.

2Abaana ba Sayuuni ab’omuwendo
abaali beenkana nga zaabu ennungi,
kaakano bali ng’ensuwa ez’ebbumba,
omulimu gw’emikono gy’omubumbi.

3Ebibe biyonsa
abaana baabyo,
naye abantu bange bafuuse ng’abatalina kisa,
bafaanana nga bammaaya mu ddungu.

4Olw’ennyonta omwana ayonka gy’alina,
olulimi lwe lukwatira ku kibuno ky’akamwa ke;
abaana basaba emmere
naye tewali n’omu agibawa.

5Abaalyanga ebiwoomerera
basabiriza ku nguudo;
n’abo abaakuzibwa ng’abambala engoye ezinekaaneka
bali ku ntuumu ez’ebisasiro.

6Ekibonerezo ky’abantu bange
kisinga ekya Sodomu,
ekyawambibwa mu kaseera akatono,
nga tewali n’omu azze kukibeera.

7Abalangira baabwe baatukula nnyo okusinga omuzira,
nga beeru okusinga amata;
n’emibiri gyabwe nga mimyufu okusinga amayinja amatwakaavu,
era banyirivu nga safiro.

8Naye kaakano badduggala okusinga enziro,
era tebakyasobola kutegeerekeka mu nguudo.
Olususu lwabwe lukalidde ku magumba gaabwe;
lukaze ng’ekiti ekikalu.

9Abafa ekitala bafa bulungi
okusinga abafa enjala,
kubanga abafa enjala bayongobera ne baggwaawo
olw’obutaba na mmere mu nnimiro.

10Abakazi ab’ekisa abaagala abaana
bafumbye abaana baabwe;
abaana abaafuuka emmere
abantu bange bwe baazikirizibwa.

11 Mukama akituukirizza mu busungu bwe obungi,
era abayiyeeko obusungu bwe obungi.
Yakoleeza omuliro mu Sayuuni
ogwayokya emisingi gyakyo.

12Bakabaka b’ensi
n’abantu ab’ensi endala tebakkiriza,
nti abalabe n’ababakyawa baliyingira
mu wankaaki wa Yerusaalemi.

13Ebyo byabatuukako olw’ebibi bya bannabbi be,
n’olw’obutali butuukirivu bwa bakabona be,
abaayiwa omusaayi
gw’abatuukirivu abaababeerangamu.

14Badoobera mu nguudo
nga bamuzibe;
bajjudde omusaayi
so tewali ayaŋŋanga okukwata ku byambalo byabwe.

15Abantu baabagobaganya nga boogera nti, “Muveewo, mmwe abatali balongoofu!
Muviireewo ddala, so temutukwatako!”
Bwe baafuuka emmombooze,
amawanga gabagobaganya nga boogera nti,
“Tebakyasaana kubeera wano.”

16 Mukama yennyini abasaasaanyizza,
takyabafaako.
Bakabona tebakyassibwamu kitiibwa,
newaakubadde abakadde okuweebwa ebifo eby’oku mwanjo.

17Amaaso gaffe gakooye
olw’okulindirira okubeerwa okutajja;
nga tulindirira
eggwanga eriyinza okutulokola.

18Baatucocca
ne batulemesa okutambulira mu nguudo zaffe;
enkomerero yaffe n’eba kumpi,
n’ennaku zaffe ne ziggwaayo.

19Abaatuyiganyanga baatusinga embiro
okusinga n’empungu ez’omu bbanga.
Baatugobera mu nsozi
ne batuteegera mu ddungu.

20Oyo Mukama gwe yafukako amafuta
yagwa mu mitego gyabwe.
Twalowooza nga tulikwekebwa mu kisiikirize kye
ne tubeeranga mu mawanga.

21Sanyuka ojaguze, ggwe Omuwala wa Edomu,
abeera mu nsi ya Uzi;
naye lumu olinywa ku kikompe
n’otamiira ne weeyambula.

22Ggwe Muwala wa Sayuuni, ekibonerezo kyo kikomye awo,
talikwongerayo mu busibe.
Naye ggwe omuwala wa Edomu, Mukama alikubonereza,
n’ayanika ekibi kyo mu lujjudde.
Copyright information for LugEEEE