‏ Micah 3

Ekibi kya Isirayiri

1Ne ndyoka ŋŋamba nti, “Muwulire mmwe abakulembeze ba Yakobo,
mmwe abafuzi b’ennyumba ya Isirayiri.
Si mmwe mwandisaanidde okumanya obwenkanya,
2mmwe abakyawa ekirungi ne mwagala ekibi;
mmwe ababaagako abantu bange eddiba
ne mubaggyako ennyama ku magumba?
3Mulya ennyama yaabwe,
ne mubabaagako eddiba,
amagumba gaabwe ne mugamenyaamenya,
era ne mubasalaasala ng’ennyama
eneefumbibwa mu nsaka.”

4Balikoowoola Mukama,
naye talibaanukula.
Mu biro ebyo alibakweka amaaso ge
olw’ebibi bye bakoze.

5Bw’atyo bw’ayogera Mukama nti, “Bannabbi ababuzaabuza abantu
balangirira nti, ‘Mirembe,’ eri oyo abaliisa,
naye oyo atabaliisa bamuggulako olutalo.
6Noolwekyo ekiro kiribajjira, awatali kwolesebwa,
n’enzikiza ebajjire awatali kulagulwa.
Enjuba erigwa nga bannabbi balaba,
n’obudde bubazibirire.
7Abalabi baliswazibwa
n’abalaguzi bakwatibwe ensonyi.
Bonna balibikka amaaso gaabwe
kubanga Katonda tabaanukula.”

8Naye nze, nzijjudde amaanyi
n’Omwoyo wa Mukama,
okwekaliriza ensonga n’obuvumu,
njasanguze eri Yakobo olw’ebikolwa bye ebibi by’akola,
olw’ekibi kya Isirayiri.

9Mumpulirize mmwe abakulembeze b’ennyumba ya Yakobo,
Mmwe abafuzi b’ennyumba ya Isirayiri,
Mmwe abanyooma obwenkanya
Ne mukyusa ekituufu ne mukifuula ekikyamu;
10mmwe abazimbidde Sayuuni ku musaayi,
Ne Yerusaalemi ne mugizimbira ku butali butuukirivu.
11Abakulembeze be, balya enguzi ne basala omusango nga beekubiira,
bakabona be, baggya ensimbi ku bantu balyoke bayigirize,
ne bannabbi be, baagala okuwa obunnabbi nga bamaze kusasulwa.
Kyokka bajuliza Mukama nga boogera nti,
Mukama tali naffe?
Tewali kinaatutuukako.”
12Noolwekyo ku lwammwe,
Sayuuni eririmibwa ng’ennimiro,
ne Yerusaalemi erifuuka ntuumu ya bifunfugu,
n’akasozi okuli yeekaalu kafuuke ng’akabira akakutte.
Copyright information for LugEEEE