Proverbs 10
Engero za Sulemaani
1Engero za Sulemaani: Omwana ow’amagezi asanyusa kitaawe;naye omwana omusirusiru anakuwaza nnyina.
2Eby’obugagga ebifuniddwa mu makubo amakyamu tebirina kye bigasa,
naye abatuukirivu banunulwa okuva mu kufa.
3 Mukama taalekenga mutuukirivu we kufa njala,
naye aziyiza abakozi b’ebibi okufuna bye beetaaga.
4Emikono emigayaavu gyavuwaza,
naye emikono eminyiikivu gireeta obugagga.
5Omuvubuka ow’amagezi akungulira mu biseera ebituufu,
naye oyo eyeebakira mu biro eby’okukunguliramu mwana aswaza ennyo.
6Omukisa gubeera ku mutwe gw’omutuukirivu,
naye akamwa k’omukozi w’ebibi kajjula obukambwe.
7Omutuukirivu anajjukirwanga n’essanyu,
naye erinnya ly’omubi linaavundanga.
8Alina omutima ogw’amagezi agondera ebiragiro,
naye omusirusiru ayogerayogera, azikirizibwa.
9Atambulira mu bwesimbu y’atambula emirembe,
naye akwata amakubo amakyamu alitegeerebwa.
10Oyo atta ku liiso ng’akweka amazima aleeta ennaku,
n’omusirusiru ayogerayogera alizikirizibwa.
11Akamwa ak’omutuukirivu nsulo ya bulamu,
naye akamwa k’omukozi w’ebibi kajjula bulabe.
12Obukyayi buleeta enjawukana,
naye okwagala kubikka ku bibi bingi.
13Amagezi gasangibwa ku mimwa gy’oyo alina okutegeera,
naye omuggo gukangavvula oyo atamanyi kusalawo bulungi.
14Abantu ab’amagezi batereka okumanya,
naye akamwa k’omusirusiru kaaniriza kuzikirira.
15Obugagga bw’omugagga kye kibuga kye ekiriko ebigo,
naye obwavu kwe kuzikirira kw’omwavu.
16Empeera y’omutuukirivu bulamu,
naye empeera y’omukozi w’ebibi emuleetera kubonerezebwa.
17Oyo assaayo omwoyo eri okubuulirirwa aba mu kkubo ery’obulamu,
naye oyo atassaayo mwoyo ku kunenyezebwa aleetera abalala okuwaba.
18Oyo akisa obukyayi alina emimwa egirimba,
era omuntu akonjera, musirusiru.
19Mu bigambo ebingi temubula kwonoona,
naye akuuma olulimi lwe aba wa magezi.
20Olulimi lw’omutuukirivu ffeeza ya muwendo,
naye omutima gw’omukozi w’ebibi gugasa katono.
21Ebigambo by’omutuukirivu biriisa abantu bangi,
naye abasirusiru bazikirira olw’okubulwa amagezi.
22Omukisa gwa Mukama guleeta obugagga
era tagwongerako buyinike.
Okuwangaala Okuli mu Kutya Mukama
23Omusirusiru asanyukira okukola ebibi,naye omuntu alina okutegeera asanyukira eby’amagezi.
24Omukozi w’ebibi ky’atayagala kirimutuukako,
naye abatuukirivu bye baagala biribaweebwa.
25Embuyaga bw’ejja, abakozi b’ebibi batwalibwa,
naye abatuukirivu banywera emirembe gyonna.
26Ng’omususa bwe gunyeenyeza amannyo, n’omukka nga bwe gubalagala mu maaso,
n’omugayaavu bw’abeera bw’atyo eri abamutuma.
27Okutya Mukama kuwangaaza omuntu,
naye emyaka gy’ababi girisalibwako.
28Essuubi ly’abatuukirivu livaamu ssanyu,
naye okusuubira kw’abakozi b’ebibi tekulivaamu kantu.
29Ekkubo lya Mukama kye kiddukiro ky’abatuukirivu, naye abakozi b’ebibi libasaanyaawo.
30Abatuukirivu tebajjululwenga ennaku zonna,
naye abakozi b’ebibi tebalisigala mu nsi.
31Akamwa k’omutuukirivu koogera eby’amagezi,
naye olulimi olwogera eby’obubambavu lulisalibwamu.
32Emimwa gy’omutuukirivu gyogera ebisaanidde;
naye emimwa gy’omukozi w’ebibi gyogera eby’obubambavu.
Copyright information for
LugEEEE