‏ Proverbs 11

1Minzaani eteri ya mazima ya muzizo eri Mukama,
naye ebipimo ebituufu bye bimusanyusa.

2Amalala bwe gajja, ng’obuswavu butuuse,
naye obwetoowaze buleeta amagezi.

3Obwesimbu bw’abatuukirivu bubaluŋŋamya,
naye enkwe z’abatali beesigwa zibazikirizisa.

4Obugagga tebugasa ku lunaku olw’okusalirwako omusango,
naye obutuukirivu buwonya okufa.

5Obutuukirivu bw’abalongoofu bubatambuliza mu kkubo eggolokofu
naye abakozi b’ebibi bagwa olw’ebikolwa byabwe ebibi.

6Obutuukirivu bw’abagolokofu bubawonya,
naye abatali beesigwa bagwa mu mutego olw’okwegomba ebibi.

7Omukozi w’ebibi bw’afa, essuubi lye libula,
ne byonna bye yasuubira mu maanyi bikoma.

8Omutuukirivu aggyibwa mu mitawaana,
naye jjijjira omukozi w’ebibi.

9Akamwa k’oyo atatya Katonda, kazikiriza muliraanwa,
naye olw’okumanya, abatuukirivu bawona.

10Abatuukirivu bwe bakulaakulana ekibuga kijaguza;
abakozi b’ebibi bwe bazikirira wawulirwawo amaloboozi ag’essanyu.

11Omukisa gw’abatuukirivu gukulaakulanya ekibuga:
naye olw’akamwa k’abakozi b’ebibi, ekibuga kizikirizibwa.

Abeesigwa n’Abatambuza Eŋŋambo

12Omuntu atalina magezi anyooma muliraanwa we,
naye omuntu ategeera akuuma olulimi lwe.

13Aseetula olugambo atta obwesigwa,
naye omuntu omwesigwa akuuma ekyama.

14Awatali kuluŋŋamizibwa eggwanga lidobonkana,
naye abawi b’amagezi abangi baleeta obuwanguzi.

15Eyeeyimirira omuntu gw’atamanyiko alibonaabona,
naye oyo akyawa okweyimirira aliba bulungi.

16Omukazi ow’ekisa aweebwa ekitiibwa,
naye abasajja ab’amawaggali bakoma ku bugagga bwokka.

17Omusajja alina ekisa aganyulwa,
naye alina ettima yeereetako akabi.

18Omukozi w’ebibi afuna empeera ey’obukuusa,
naye oyo asiga eby’obutuukirivu akungula empeera eya nnama ddala.

19Omuntu omutuukirivu ddala alifuna obulamu,
naye oyo akola ebitali bya butuukirivu alifa.

20 Mukama akyawa abantu abalina emitima emikyamu,
naye ab’amakubo amagolokofu be bamusanyusa.

21Mutegeerere ddala ng’abakozi b’ebibi tebalirema kubonerezebwa,
naye bazzukulu b’abatuukirivu tebalibaako musango.

22Ng’empeta ya zaabu mu nnyindo y’embizzi,
bw’atyo bw’abeera omukazi omulungi atalaba njawulo wakati w’ekirungi n’ekibi.

23Abatuukirivu bye beegomba bivaamu birungi byereere,
naye abakozi b’ebibi bye bakola bisunguwaza.

Omuntu Omugabi

24Omuntu agaba obuteerekereza, yeeyongera bweyongezi kugaggawala;
naye akwatirira kye yandigabye, yeeyongera kwavuwala.

25Omuntu agaba anagaggawalanga,
n’oyo ayamba talibulako amuyamba.

26Abantu bakolimira oyo akweka eŋŋaano mu kiseera eky’obwetaavu,
naye oyo agitunda mu kiseera ekyo afuna emikisa.

27Oyo anyiikira okukola obulungi afuna okuganja,
naye oyo anoonya ekibi, kimujjira.

28Oyo eyeesiga obugagga bwe aligwa,
naye abatuukirivu banaakulaakulananga ne baba ng’amalagala amalamu.

29Omuntu aleeta emitawaana mu maka g’ewaabwe, alisikira mpewo;
era n’omusirusiru aliba muddu w’oyo alina omutima ogw’amagezi.

30Ekibala ky’omutuukirivu muti gwa bulamu,
era n’oyo asikiriza emyoyo gy’abantu ne balokoka wa magezi.

31Obanga omutuukirivu alifuna ekimusaanidde ku nsi kuno,
oyo atatya Katonda n’omwonoonyi balirema obutafuna ekibasaanidde?
Copyright information for LugEEEE