‏ Proverbs 21

1Omutima gwa kabaka guli ng’amazzi agakulukutira mu mukono gwa Mukama,
era agukyusiza gy’ayagala yonna.

2Buli kkubo lya muntu liba ng’ettuufu mu maaso ge,
naye Mukama apima omutima.

3Okukola ebituufu n’eby’amazima
kisanyusa Mukama okusinga ssaddaaka.

4Amaaso ageegulumiza, n’omutima ogw’amalala,
ye ttabaaza y’ababi, era ebyo kwonoona.

5Enteekateeka z’omunyiikivu zivaamu magoba meereere,
naye okwanguyiriza okutalina nteekateeka kuvaamu bwavu.

6Okufuna obugagga n’olulimi olulimba,
mpewo buwewo etwalibwa eruuyi n’eruuyi era mutego gwa kufa.

7Obukambwe bw’ababi bulibamalawo,
kubanga bagaana okukola eby’ensonga.

8Ekkubo ly’abazza emisango liba kyamu,
naye ery’abataliiko musango liba golokofu.

9Okusula ku kasolya k’ennyumba,
kisinga okubeera mu nnyumba n’omukazi omuyombi.

10Emmeeme y’omubi yeegomba okukola ebibi;
talaga muliraanwa we kisa n’akatono.

11Omukudaazi bw’abonerezebwa, atalina magezi agafuna;
n’ow’amagezi bw’ayigirizibwa afuna okutegeera.

12Katonda alaba ebifa mu nnyumba y’omubi,
era abakozi b’ebibi abazikkiririza ddala.

13Oyo aziba amatu ge eri okulaajana kw’omwavu,
naye alikoowoola nga talina amwanukula.

14Ekirabo ekigabire mu kyama kikakkanya obusungu obungi,
n’enguzi ebikiddwa mu munagiro eggyawo ekiruyi ekingi.

15Ensonga bwe zisalibwa mu bwenkanya, lye ssanyu eri abatuukirivu,
naye kiba kyekango eri abakozi b’ebibi.

16Omuntu awaba okuva mu kkubo ly’okutegeera,
agukira mu bafu.

17Aganza eby’amasanyu anaabanga mwavu, n’oyo
ayagala omwenge n’amafuta taligaggawala.

18Abakozi b’ebibi batuukibwako emitawaana egyandigudde ku balungi,
n’ekyandituuse ku b’amazima kituuka ku batali beesigwa.

19Okubeera mu ddungu,
kisinga okubeera n’omukazi omuyombi anyiiganyiiga.

20Mu nnyumba y’omutuukirivu mubaamu eby’obugagga eby’omuwendo,
naye omusirusiru ebibye byonna abyonoona.

21Agoberera obutuukirivu n’ekisa,
alibeera n’obulamu obukulaakulana n’ekitiibwa.

22Omuntu ow’amagezi alumba ekibuga eky’abazira nnamige,
era n’asesebbula enfo yaabwe gye beesiga.

23Afuga akamwa ke n’olulimi lwe,
yeewoonya emitawaana.

24“Mukudaazi,” lye linnya ly’ab’amalala abeeraga,
abeetwalira mu kwemanya okw’ekitalo mwe batambulira.

25Okwetaaga kw’omugayaavu lwe luliba olumbe lwe,
kubanga emikono gye tegyagala kukola.

26Olunaku lwonna aba yeegomba kweyongezaako,
naye omutuukirivu agaba awatali kwebalira.

27Ssaddaaka y’omubi ya muzizo,
na ddala bw’agireeta ng’alina ekigendererwa ekitali kirungi.

28Omujulizi ow’obulimba alizikirira,
naye ekigambo ky’oyo ayogera eby’amazima kiribeerera emirembe gyonna.

29Omuntu omubi yeekazaakaza,
naye omuntu ow’amazima yeegendereza amakubo ge.

30Tewali magezi, newaakubadde okutegeera, wadde ebiteeso
ebiyinza okulemesa Mukama.

31Embalaasi etegekerwa olunaku olw’olutalo,
naye obuwanguzi buva eri Mukama.
Copyright information for LugEEEE