Proverbs 29
Obukulembeze bw’Abatuukirivu
1Omuntu akakanyaza omutima gwe oluvannyuma lw’okunenyezebwa emirundi emingi,alizikirira ng’atamanyiridde awatali kuwona.
2Abatuukirivu bwe bakulaakulana, abantu basanyuka,
naye abakakanyalira mu kukola ebikyamu bwe bafuga abantu babeera mu kusinda.
3Ayagala amagezi asanyusa kitaawe,
naye munne w’abamalaaya ayiwaayiwa obugagga bwe.
4Kabaka afuga n’obwenkanya, abantu be baba mu butebenkevu,
naye oyo alulunkanira enguzi, ensi agyonoona.
5Omuntu awaanawaana munne,
aba yeetega yekka ekitimba.
6Ebibi by’omwonoonyi bye bimutega,
naye omutuukirivu abeera mu kuyimba na kusanyuka.
7Omutuukirivu afaayo ku nsonga z’abaavu,
naye abakozi b’ebibi tebakola bwe batyo.
8Abakudaazi basasamaza ekibuga,
naye abantu abalina amagezi baziyiza entalo.
9Omuntu ow’amagezi bw’awoza n’omusirusiru,
omusirusiru ayongera kusunguwala, n’okujerega ne wataba mirembe.
10Abeegomba okuyiwa omusaayi bakyawa omuntu ow’amazima,
era banoonya okusaanyaawo obulamu bwe.
11Omusirusiru alaga obusungu bwe bwonna,
naye omuntu ow’amagezi abuziyiza n’abukkakkanya.
12Omufuzi bw’awuliriza eby’obulimba,
abakungu be bonna bafuuka babi.
13Omwavu n’oyo amubonyaabonya balina ekibagatta:
Mukama bombi ye yabawa amaaso.
14Kabaka bw’asalira abaavu emisango n’obwesigwa,
obufuzi bwe bubeerera emirembe gyonna.
15Akaggo akakangavvula, kaleeta amagezi,
naye omwana alekeddwa awo, aswaza nnyina.
16Abakozi b’ebibi bwe beeyongera obungi, okumenya amateeka kweyongera,
naye abatuukirivu baliraba okugwa kwabwe.
17Kangavvula omwana wo, alikuwa emirembe,
alireetera emmeeme yo essanyu.
18Awatali kwolesebwa abantu tebaba beegendereza,
naye wa mukisa oyo akuuma amateeka ga Mukama.
19Omuweereza tayinza kubuulirirwa na bigambo byokka;
ne bw’aba ategedde tafaayo.
20Olaba omuntu ayanguyiriza ebigambo bye?
Omusirusiru alina essuubi okumusinga.
21Atiitiibya omuweereza we ekiyitiridde ng’akyali mwana muto,
oluvannyuma omuweereza aleetera mukama we obuyinike.
22Omuntu ow’obusungu aleeta ennyombo,
n’omuntu asunguwala amangu ayonoona nnyo.
23Amalala g’omuntu galimuleetera okugwa,
naye omuntu ow’omwoyo ogwetoowaza alifuna ekitiibwa.
24Buli assa ekimu n’omubbi akyawa obulamu bwe ye,
era ne bw’alayizibwa tasaanira kubaako ky’ayogera.
25Okutya omuntu kuleeta ekyambika,
naye buli eyeesiga Mukama anaabanga mirembe.
26Bangi abanoonya okuganja mu maaso g’omufuzi,
naye obwenkanya obwa nnama ddala buva eri Mukama.
27Atali mutuukirivu wa muzizo eri abatuukirivu;
era omwesimbu wa muzizo eri abakozi b’ebibi.
Copyright information for
LugEEEE