Proverbs 6
Okulabula ku Butamanya n’Obusirusiru
1Mutabani obanga weeyimirira muliraanwa wo,ne weeyama okuyamba omuntu gw’otomanyi, oli mu katyabaga.
2Obanga weesibye n’ebigambo ggwe kennyini bye wayogera,
ng’ebigambo by’omu kamwa ko bikusibye,
3kino mwana wange ky’oba okola okusobola okwewonya,
kubanga kaakano oli mu buyinza bwa muliraanwa wo:
Yanguwa, ogende weetoowaze,
weegayirire muliraanwa wo.
4Amaaso go togaganya kwebaka,
wadde ebikowe byo okubongoota.
5Onunule obulamu bwo ng’empeewo bw’edduka okuva mu ngalo z’omuyizzi,
era ng’ekinyonyi, bwe kiva mu mutego gw’omutezi.
6Yigira ku biwuka, mugayaavu ggwe;
fumiitiriza engeri gye bikolamu obiyigireko.
7Tebirina mukulembeze,
mukungu oba mufuzi yenna abikulembera,
8kyokka byekuŋŋaanyiza emmere mu biseera eby’amakungula,
ne bitereka emmere mu biseera ebituufu mu mwaka.
9Olituusa ddi okwebaka mugayaavu ggwe?
Oligolokoka ddi n’ova mu tulo two?
10Otulo otutonotono, n’okusumagira akatono,
n’okufunya emikono okuwummulako,
11obwavu bulikutuukako ng’omutemu,
era n’obwetaavu ng’omutemu.
Okulabula eri Omuntu Omutabuzitabuzi
12Omuntu ataliiko ky’agasa, omusajja omubiagenda ayogera ebigambo ebitabulatabula,
13agenda atemyatemya ku liiso,
nga bw’akuba ebigere
ate nga bw’asongasonga olunwe,
14olw’omutima omukyamu, ateekateeka okukola ebibi,
bulijjo aleeta obutakkaanya mu bantu!
15Noolwekyo okuzikirira kulimujjira mbagirawo,
mu kaseera buseera alibetentebwa awatali kuwona.
Okulabula ku Bibi Omusanvu
16Waliwo ebintu mukaaga Mukama by’akyawa,weewaawo musanvu eby’omuzizo gy’ali.
17Amaaso ag’amalala,
emimwa egirimba,
okuttira abantu obwereere;
18omutima ogutegeka okukola ebibi,
ebigere ebyanguwa okukola ebibi,
19obujulizi obw’obulimba,
n’omuntu aleeta obutakkaanya mu booluganda.
Okulabula Ku Bwenzi
20Mwana wange nyweza ebiragiro bya kitaawo,era togayaalirira kuyigiriza kwa maama wo.
21Bisibenga ku mutima gwo ennaku zonna
era obisibe binywerere mu bulago bwo.
22Bijja kukuluŋŋamyanga buli gy’onoolaganga,
ne bw’onoobanga weebase binaakukuumanga,
ate ng’ozuukuse binaabanga naawe.
23Kubanga amateeka ttabaaza,
era n’okuyigiriza kitangaala,
okukulabula olw’okukuluŋŋamya,
ly’ekkubo ery’obulamu,
24okukuwonya omukazi ow’ebibi,
okukuggya mu kunyumiikiriza kw’omukazi omwenzi.
25Teweegombanga bulungi bwe mu mutima gwo,
wadde okumukkiriza okukuwamba n’amaaso ge,
26kubanga malaaya akussa ku muwendo ogugula omugaati,
era omukazi omwenzi anoonya kuzikiririza ddala bulamu bwo.
27Omuntu ayinza okuwambaatira omuliro mu kifuba kye,
ebyambalo bye ne bitaggya?
28Oba omuntu ayinza okutambulira ku manda agookya,
ebigere bye ne bitasiriira?
29Bwe kityo bwe kiri eri omusajja agenda ne muka muliraanwa we,
buli akwata ku mukazi ng’oyo talirema kubonerezebwa olw’ekibi kye.
30Abantu tebasekerera muntu bw’abba,
olw’okwewonya enjala.
31Naye bwe bamukwata aba alina okuwa engassi ya mirundi musanvu;
ne bwe kiba nga kimumalako ebintu bye byonna eby’omu nju ye.
32Naye buli ayenda ku mukazi talina magezi;
kubanga azikiririza ddala emmeeme ye ye.
33Alifuna ebiwundu n’okunyoomebwa;
n’obuswavu tebulimusangulibwako.
34Kubanga obuggya buleetera omusajja okuswakira,
era taliba na kisa n’akatono nga yeesasuza.
35Talikkiriza mutango gwonna,
wadde okuwooyawooyezebwa enguzi ennene.
Copyright information for
LugEEEE