Proverbs 12
1Buli asanyukira okukangavvulwa ayagala amagezi;naye oyo akyawa okunenyezebwa musirusiru.
2Omuntu omulungi aganja mu maaso ga Mukama,
naye Mukama asalira omusango omuntu ow’enkwe.
3Omuntu tanywezebwa lwa kukola bitali bya butuukirivu,
naye omulandira gw’omutuukirivu tegulisigulwa.
4Omukyala ow’empisa ennungi ssanyu era ngule ya mwami we,
naye omukazi eyeeyisa obubi ali nga kookolo mu magumba ga bba.
5Enteekateeka z’omutuukirivu ziba za mazima,
naye amagezi g’abakozi b’ebibi ge bawa gaba ga bulimba.
6Ebiteeso by’abakozi b’ebibi kuyiwa musaayi,
naye ebigambo by’abatuukirivu bye bibawonya.
7Abakozi b’ebibi bagwa ne basaanirawo ddala,
naye ennyumba y’omutuukirivu teesagaasaganenga emirembe gyonna.
8Ebigambo by’omugezi bimuleetera okusiimibwa,
naye eby’omusirusiru bimunyoomesa.
9Omuntu eyeetoowaza ne yeekolera,
asinga oyo eyeegulumiza n’abulwa ky’alya.
10Omutuukirivu afaayo ku bisolo bye,
naye omukozi w’ebibi abiraga bukambwe bwereere.
11Oyo eyeerimira aliba n’emmere nnyingi,
naye oyo anoonya ebitaliimu talina magezi.
12Abakozi b’ebibi baagala okubba omunyago gwa babbi bannaabwe,
naye omulandira gw’abatuukirivu gunywera.
13Ebigambo by’omukozi w’ebibi bimusuula mu mitawaana,
naye omutuukirivu awona akabi.
14Omuntu ajjuzibwa ebirungi okuva mu bibala bye bigambo by’akamwa ke,
n’emirimu gy’emikono gye gimusasula bulungi.
15Ekkubo ly’omusirusiru ddungi mu kulaba kwe ye,
naye omugezi assaayo omwoyo ku magezi agamuweebwa.
16Omusirusiru alaga mangu obusungu bwe,
naye omutegeevu tassa mwoyo ku kivume.
17Omujulizi ow’amazima awa obujulizi obutuufu,
naye omujulizi ow’obulimba ayogera bya bulimba.
18Ebigambo ebyanguyirize bisala ng’ekitala ekyogi,
naye olulimi lw’omuntu omugezi luwonya.
19Emimwa egyogera amazima gibeerera emirembe gyonna,
naye olulimi olulimba lwa kiseera buseera.
20Obulimba buli mu mitima gyabo abategeka okukola ebibi,
naye essanyu liri n’abo abakolerera emirembe.
21Tewali kabi konna kagwa ku batuukirivu,
naye abakozi b’ebibi tebaggwaako mitawaana.
22 Mukama akyawa emimwa egirimba,
naye asanyukira ab’amazima.
23Omuntu omutegeevu talaga nnyo by’amanyi,
naye abasirusiru balaga obutamanya bwabwe.
24Omukono gw’omunyiikivu gulimufuula omufuzi,
naye obugayaavu bufuula omuntu omuddu.
25Omutima ogweraliikirira guleetera omuntu okwennyika,
naye ekigambo eky’ekisa kimusanyusa.
26Omutuukirivu yeegendereza mu mikwano gye,
naye ekkubo ly’ababi libabuza.
27Omuntu omugayaavu tayokya muyiggo gwe,
naye omunyiikivu kyayizze, kiba kya muwendo gyali.
28Mu kkubo ery’obutuukirivu mulimu obulamu,
era mu kkubo eryo temuli kufa.
Copyright information for
LugEEEE