Proverbs 13
Ensibuko y’Obugagga Obungi
1Omwana omugezi assaayo omwoyo eri ebiragiro bya kitaawe,naye omunyoomi tafaayo ku kunenyezebwa.
2Omuntu asanyuka olw’ebirungi ebiva mu bibala bya kamwa ke,
naye atali mwesigwa yeegomba kuleeta ntalo.
3Oyo eyeegendereza by’ayogera akuuma obulamu bwe,
naye oyo amala googera, alizikirira.
4Omuntu omugayaavu yeegomba kyokka n’atabaako ky’afuna,
naye omunyiikivu byayagala byonna abifuna.
5Omuntu omutuukirivu akyawa obulimba,
naye omukozi w’ebibi yeereetera kunyoomebwa.
6Obutuukirivu bukuuma omuntu omwesimbu,
naye okukola ebibi kuzikiriza omwonoonyi.
7Omuntu omu ayinza okwefuula omugagga ate nga taliiko ky’alina,
ate omulala ne yeefuula okuba omwavu so nga mugagga nnyo.
8Obugagga bw’omuntu buyinza okumununula,
naye omwavu talina ky’atya.
9Ekitangaala ky’abatuukirivu kyaka nnyo,
naye ettaala y’abakozi b’ebibi ezikira.
10Amalala gazaala buzaazi nnyombo,
naye amagezi gasangibwa mu abo abakkiriza okulabulwa.
11Ensimbi enkumpanye ziggwaawo,
naye ezijja empolampola zeeyongera obungi.
12Essuubi erirwawo okutuukirira lirwaza omutima,
naye ekyegombebwa bwe kituukirira kiba muti gwa bulamu.
13Omuntu anyooma ebiragiro aligwa mu mitawaana,
naye oyo awuliriza ebimulagirwa aliweebwa empeera.
14Okuyigiriza kw’omuntu alina amagezi nsulo ya bulamu,
era kuggya omuntu mu mitego gy’okufa.
15Okutegeera okulungi kuleeta okuganja,
naye ekkubo ly’abateesigibwa liba zzibu.
16Omuntu omwegendereza akola amaze kulowooza,
naye omusirusiru alaga obutamanya bwe.
17Omubaka omubi yeesuula mu mitawaana,
naye omubaka omwesigwa aleeta kuwonyezebwa.
18Anyooma okukangavvulwa yeereetako obwavu n’obuswavu,
naye oyo assaayo omwoyo ku kunenyezebwa aweebwa ekitiibwa.
19Ekyegombebwa bwe kituukirira kisanyusa omutima,
naye okulekayo okukola ebibi kya muzizo eri abasirusiru.
20Oyo atambula n’abantu abagezi ageziwala,
naye oyo atambula n’abasirusiru alaba ennaku.
21Emitawaana gigoberera aboonoonyi,
naye okukulaakulana y’empeera y’abatuukirivu.
22Omuntu omulungi alekera bazzukulu be ebyobusika,
naye obugagga bw’omwonoonyi buterekerwa omutuukirivu.
23Ennimiro z’abaavu ziyinza okuvaamu emmere nnyingi,
naye obutali bwenkanya ne bugyera yonna.
24Atakozesa kaggo akyawa omwana we,
naye oyo amwagala afaayo okumukangavvula.
25Omutuukirivu alya emmere ye n’akkuta,
naye abakozi b’ebibi basigala nga bayala.
Copyright information for
LugEEEE