Proverbs 15
1Okuddamu n’eggonjebwa kumalawo ekiruyi,naye ekigambo eky’obukambwe kisaanuula obusungu.
2Olulimi lw’omugezi lwogera by’amagezi,
naye akamwa k’abasirusiru kafukumula busirusiru bwereere.
3Amaaso ga Mukama galaba buli wantu,
alaba abatuukirivu n’abakozi b’ebibi.
4Olulimi oluzimba muti gwa bulamu,
naye olulimi olulimba lubetenta omutima.
5Omusirusiru anyooma okubuulirirwa kwa kitaawe,
naye omutegeevu assaayo omwoyo eri okunenyezebwa.
6Mu nnyumba y’omutuukirivu mubaamu obugagga bungi,
naye omukozi w’ebibi by’afuna, bimuleetera emitawaana.
7Akamwa k’amagezi kabunyisa okumanya,
naye omutima gw’abasirusiru si bwe gukola.
8Ssaddaaka y’aboonoonyi ya muzizo eri Mukama,
naye okusaba kw’abalongoofu lye ssanyu lye.
9Ekkubo ly’omwonoonyi lya muzizo eri Mukama,
naye Mukama ayagala oyo anoonya obutuukirivu.
10Oyo aleka ekkubo ettuufu alikangavvulwa n’amaanyi,
n’oyo akyawa okunenyezebwa alifa.
11Okufa n’okuzikirira biri mu maaso ga Mukama,
n’okulaba alaba nnyo emitima gy’abaana b’abantu!
12Omunyoomi tayagala kunenyezebwa,
era teeyeebuuza ku b’amagezi.
13Omutima omusanyufu guleeta essanyu ku maaso,
naye omutima omunyiikaavu gunafuya emmeeme.
14Omutima omutegeevu gunoonya okumanya,
naye akamwa k’abasirusiru kalya busirusiru.
15Omuntu bw’aba omunyiikaavu, buli kimu kimwononekera,
naye omutima omusanyufu gujaguza buli kaseera.
16Okuba n’akatono ng’otya Mukama,
kusinga okuba n’ebingi naye ng’oli mu mitawaana.
17Okulya emmere ng’eriko enva endiirwa awali okwagalana,
kisinga okuliirako ebyassava awali obukyayi.
18Omuntu asunguwala amangu asaanuula oluyombo,
naye omugumiikiriza akakkanya embeera.
19Ekkubo ly’omugayaavu lijjula amaggwa,
naye ekkubo ly’omutuukirivu golokofu.
20Omwana omugezi asanyusa kitaawe,
naye omuntu omusirusiru anyooma nnyina.
21Obusirusiru ssanyu eri oyo atalina magezi,
naye omuntu ategeera atambulira mu kkubo eggolokofu.
22Awatali kuluŋŋamizibwa entegeka zifa,
naye awali abawi b’amagezi abangi ziyitamu.
23Okuddamu obulungi kisanyusa,
era kirungi ekigambo ekirungi okujjira mu kiseera ekituufu.
24Ekkubo ery’obulamu liyimusa omugezi,
ne limuziyiza okukka emagombe.
25 Mukama azikiriza ennyumba y’ab’amalala,
kyokka akuuma ensalo za nnamwandu.
26Enkwe za muzizo eri Mukama,
naye ebigambo ebisaanidde, bimusanyusa.
27Oyo anoonya okugaggawalira mu bukyamu aleetera ennyumba ye emitawaana,
naye oyo akyawa enguzi aliba mulamu.
28Omutima gw’omutuukirivu gufumiitiriza bye gunaayanukula,
naye akamwa k’omwonoonyi kafubutula ebitasaana.
29 Mukama ali wala n’aboonoonyi,
naye awulira okusaba kw’abatuukirivu.
30Amaaso agajjudde essanyu gasanyusa omutima,
n’amawulire amalungi galeetera amagumba obulamu.
31Oyo assaayo omwoyo eri okunenyezebwa okuleeta obulamu,
alituula wamu n’abagezi.
32Agayaalirira okubuulirirwa yeerumya yekka,
naye oyo assaayo omwoyo eri okunenyezebwa afuna okutegeera.
33Okutya Mukama kuyigiriza omuntu amagezi,
n’obwetoowaze kye kitiibwa ky’omuntu oyo.
Copyright information for
LugEEEE