‏ Proverbs 16

Mukama Agera Ekkubo ly’Omuntu

1Omuntu ateekateeka by’ayagala okukola mu mutima gwe,
Naye okuddamu kuva eri Mukama.

2Amakubo g’omuntu gonna gaba matuufu mu maaso ge ye,
naye Mukama y’apima ebigendererwa.

3Emirimu gyo gyonna gikwasenga Mukama,
naye anaatuukirizanga entegeka zo.

4 Mukama buli kimu akikola ng’alina ekigendererwa,
n’abakozi b’ebibi y’abakolera olunaku lwe batuukibwako ebizibu.

5Buli muntu alina omutima ogw’amalala wa muzizo eri Mukama;
weewaawo talirema kubonerezebwa.

6Olw’okwagala n’olw’obwesigwa, ekibi kisasulibwa,
n’okutya Mukama kuleetera omuntu okwewala okukola ebibi.

7Amakubo g’omuntu bwe gaba gasanyusa Mukama,
aleetera abalabe b’omuntu oyo okubeera naye mu mirembe.

8Akatono akafune mu butuukirivu,
kasinga obugagga obungi obufune mu bukyamu.

9Omutima gw’omuntu guteekateeka ekkubo lye,
naye Mukama y’aluŋŋamya bw’anaatambula.

10Kabaka ky’ayogera kiba ng’ekiva eri Katonda,
n’akamwa ke tekasaanye kwogera bitali bya bwenkanya.

11Ebipimo ne minzaani ebituufu bya Mukama,
ebipimo byonna ebikozesebwa y’abikola.

12Kya muzizo bakabaka okukola ebibi,
kubanga entebe ye ey’obwakabaka enywezebwa butuukirivu.

13Akamwa akogera eby’amazima bakabaka ke basanyukira,
era baagala oyo ayogera amazima.

14Obusungu bwa kabaka buli ng’ababaka abaleese okufa,
omusajja ow’amagezi alibukkakkanya.

15Kabaka bw’asanyuka kireeta obulamu;
n’okuganza kwe, kuli nga ekire eky’enkuba
Ekire ky’enkuba mu biseera ebya ttoggo etegeeza kujimuka, era kabonero ka kukulaakulana na ssanyu
mu biseera ebya ttoggo.

16Okufuna amagezi nga kusinga nnyo okufuna zaabu,
era n’okufuna okutegeera kikira ffeeza!

17Ekkubo ly’abagolokofu kwe kwewala ebibi,
n’oyo eyeekuuma mu kutambula kwe, awonya emmeeme ye.

18Amalala gakulembera okuzikirira,
n’omwoyo ogwegulumiza gukulembera ekigwo.

19Okubeera n’omwoyo ogwetoowaza era n’okubeera n’abaavu,
kisinga okugabana omunyago n’ab’amalala.

20Oyo assaayo omwoyo ku kuyigirizibwa alikulaakulana,
era alina omukisa oyo eyeesiga Mukama.

21Abalina emitima egy’amagezi baliyitibwa bategeevu,
n’enjogera ennungi eyongera okuyamba okutegeera.

22Amagezi nsulo ya bulamu eri oyo agalina,
naye obusirusiru buleetera abasirusiru okubonerezebwa.

23Omutima gw’omuntu ow’amagezi gumuwa enjogera ennungi,
era akamwa ke kayigiriza abalala.

24Ebigambo ebirungi biri ng’ebisenge by’omubisi gw’enjuki,
biwoomera emmeeme, ne biwonya n’amagumba.

25Wabaawo ekkubo erirabika ng’ettuufu eri omuntu,
naye ku nkomerero limutuusa mu kufa.

26Okwagala okulya kuleetera omuntu okukola n’amaanyi,
kubanga enjala emukubiriza okweyongera okukola.

27Omuntu omusirusiru ategeka okukola ebitali bya butuukirivu,
era n’ebigambo bye, biri ng’omuliro ogwokya ennyo.

28Omuntu omubambaavu asiikuula entalo,
n’ow’olugambo ayawukanya ab’omukwano enfirabulago.

29Omuntu omukyamu asendasenda muliraanwa we
n’amutwala mu kkubo eritali ttuufu.

30Omuntu atemya ku liiso ateekateeka kwonoona,
n’oyo asongoza emimwa ategeka kukola bitali birungi.

31Omutwe ogw’envi ngule ya kitiibwa,
gufunibwa abo abatambulira mu bulamu obutuukirivu.

32Omuntu omugumiikiriza asinga omutabaazi,
n’oyo afuga obusungu bwe akira awamba ekibuga.

33Akalulu kayinza okukubibwa,
naye okusalawo kwa byonna kuva eri Mukama.
Copyright information for LugEEEE